Bya Musasi waffe
Minisita avunaanyizibwa ku by’obusuubuzi n’amakolero Amelia Kyambadde ku lw’omukaaga ne Sunday wa kugendako kunsalo za Uganda e Malaba, Busia ne Elegu okusobola okulaba embeera abavuzi b’ebimotoka gyebalimu.
Bwabadde ayogerako eri Bannamawulire mu Kampala, Kyambadde yagambye nti yategeezeddwa ku mujjuzo gw’ebimotoka ku nsalo nga awamu ng’e Busia akalippagano kano kagenda kilomita 30.
Abavuzi bali kunsalo kubanga omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni gyebuvuddeko yasalawo nti teri muvuzi wabimotoka bino alina kuyingira Uganda nga tamaze kukaberebwa kirwadde kya coronavirus era naazuulibwa nti takirina.
Kino kyaddirira omuwendo gw’abalwadde okweyongera nga naye bonna bagwira abava e Kenya, Tanzania oba South Sudan.
“Tugenda kulaba obuzibu obuli ku nsalo olwo tulyoke tulabe amagezi getugenda okusala, kubanga waliwo okwemulugunya kwamanyi,” Kyambadde bweygamabye.
Ate kululwe, George Odongo, omubaka mu palamenti ya mawanga agali mu buvanjuba bwa Africa, yagambye nti amawanga gano galina okubaako kyegakola amangu okusalira embeera eno amagezi ng’ekizimba tekinnasamba ddagala.