Bya Gerald Mulindwa
Mutundwe
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, atenderezza emirimu gyeyali Minisita wa Kabaka ow’ebyemizannyo Owek. Herbert Ssemakula kati omugenzi era nasaasira ab’enju y’omugenzi olw’ekikangabwa kino.
Okusaasira kuno Katikkiro akukoledde mu maka g’Omugenzi Owek. Herbert Ssemakula e Mutundwe mu Lubaga ku Lwokusatu gyabadde agenze okukubagiza akawungeezi ka leero.
“Ssentebe eyalondeddwa abadde agamba nti omugenzi yakola nnyo, nanokolayo emipiira gy’Amasaza, amaato n’omupiira mu Kika ky’Olugave naye waliwo n’embiro zeyatandika zebayita Buganda Road Race kwetwazimbira ekirowoozo ky’emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka ennaku zino zetudduka,” Mayiga bweyategeezezza.
Kamalabyonna yanyonyodde nti bulijjo ssi kikulu okutunuulira ebbanga omuntu lyabeera amaze mu kifo naye kiki kyasobodde okukolera mu kifo kyo.
“Ku mitwalo ettaano kumpi ettaano kitundu ku misinde egyasembayo giri ku mwanjo mu misinde Mubunabyalo mu nsi yonna, era akasigo bwojja okanoonya ojja kukalaba mu Ssemakula ow’olugave,” Mayiga bweyagasseeko.
Mayiga yategeezezza nti bwebabeera baweereza e Mengo kubeera kussaako ttofaali era nga omugenzi kino yakikola ate nga ayagala nnyo ekika kye.
Katikkiro yagambye nti emirundi ekika ky’Olugave gyekyasobola okukola obulungi mu mpaka z’ebika gyali lwakuba Ssemakula yali ateekamu amaanyi.
Amyuka Katikkiro w’ekika ky’Olugave era nga yeyalondeddwa okubeera Ssentebe w’ enteekateeka z’okuziika, Fred Katende Kyekango yategeezezza Katikkiro nti omugenzi abadde yenyumiriza nnyo mu Buganda era nga ayagala nnyo empaka z’amaato wamu n’emipiira gy’Amasaza.
Katende yanyonyodde Katikkiro nti, Olukiiko lwe yawereddwa okukulembera lwasazeewo omugenzi aziikibwe ku biggya bya bajjajabe e Nabalanga mu ggombolola ye Masuulita ku lunaku olw’okutaano.
Kinajjukirwa nti, Omugenzi Ssemakula yafa ku lunaku lwa Mmande nga kigambibwa nti ono olwamubikidde okufa kwa mwanyina naye Puleesa nezimukuba naafa.