• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Omugagga Ham yeefudde, alemedde ku by’okutwala ettaka lya Kabaka e Kigo

Gambuuze by Gambuuze
May 9, 2022
in Amawulire
0 0
0
Omugagga Ham yeefudde, alemedde ku by’okutwala ettaka lya Kabaka e Kigo
0
SHARES
64
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Kampala

Omugagga Hamis Kiggundu amanyiddwa nga Ham wadde yali asuubizza nga bwe yeesonyiwe ettaka lya Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka eriweza yiika 140 erisangibwa e Kigo okuliraana ennyumba za Mirembe Villas asitudde buto enkundi nga agamba nti ettaka lino lirye so si lya Kabaka.

Kiggundu kati apangisizza munnamateeka omukugu, Fred Muwema amuyambeko okutabaala embuga z’amateeka afune ettaka lino.

Muwema yatandika nakuwandiika bbaluwa ez’enjawulo nga alaba obwetaavu bwa Ham nga ayitira mu kampuni ya KIHAM Enterprises Ltd. okukozesa ettaka lino mu mbeera yonna wadde yali ategeezezza bannamawulire nga bwe yeesonyiye ettaka lino kuba musajja muganda atasobola kuteekawo lukonko wakati we ne Buganda.

Era oluvannyuma lw’okulayira bwati bannamateeka b’ Obwakabaka nga bayita mu  K&K Advocates ne Sebalu Lule Advocates, bawandiikira Kamisona akulira eby’okuwandiisa ettaka John Karuhanga nga basaba ebyapa Ham byeyali afunye ku ttaka lino bisazibwemu.

Bwatyo Kamisona yayita olukiiko ku Lwokutaano oluwedde ku kitebe kya Minisitule y’ebyettaka era Buganda yakiikirirwa Usaama Sebuufu, Bashir Kizito J, Edward Mukwaya, James Sebugenyi Mukasa, Tendo Lubwama ne Daniel Ssenyomo.

Hamis Kiggundu yajja ne banne okuli; Edward Nakibinge, Anthony Tomusange, William Matovu (eyali akola ne UNRA), Doreen Naiga ne Gilbert Simo Kasozi akolera ku disitulikiti e Wakiso.

Bano babadde bakulembeddwamu munnamateeka Muwema era nebawakanya eky’okusazaamu ekyapa  kino ekintu ekikontana  nebigambo byeyayogerera e Bulange nti yeesonyiye eby’ettaka lino.

Kino kitabudde buto abantu ba Kabaka  nebaddamu okwogerera Ham amafuukule nga bamulumiriza  okulumba Obwakabaka n’okuvoola ekitibwa kya Nnamulondo nga bagamba nti tewali ngeri omusajja omuganda nga Ham bwatandika kukaayanira ttaka lya Kabaka lyamanyi obulungi nti sirirye.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist