![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/04/Alam.jpg)
Musasi waffe
Omugagga Abid Alam ekawungeezi kaleero asindikiddwa mu kkomera e Kitalya okutuuka nga May 8 lwanadda mu kkooti okwewozaako.
Ono eyakwatibwa sabbiiti ewedde akakiiko akakola kukulwanyisa enguzi mu maka g’obwapulezidenti nga kakulirwa munnamagye, Col. Edith Nakalema.
Alam n’abasirikale ba poliisi bana eb’ekitundu ky’e Wamala bavunaanibwa okutulugunya abatuuze be Kassanda ng’abaagala babagobe kuttaka lyabwe.
Abasirikale kuliko akulira okunonyereza ku buzzi bw’emisango mu kitundu ky’e Wamala, Wilbert Osin Wanyama,akulira poliisi y’e Kassanda Daniel Owellano, wamu n’akulira okunonyereza mu kitundu ky’ekimu Peter Beitera ssako n’akulira okunonyereza ku poliisi y’e Kassanda Sgt. Azale.
Kigambibwa bano bayambako Alam okumuwa fayiro ekwata kuttaka erikayanirwa e Kassanda kweyasinziira n’agoba abatuuze ku ttaka wamu n’okubatulugunya.
Abataano bano bonna beeganye emisango gino.