Bya Saava Kevins Kanyike
Kiwologoma-Kyaddondo
Mubiru y’atuuziddwa ku ky’omubaka omuggya ow’Omutaka Gabunga mu Ssaza Kyaddondo ku mukolo ogukwatiddwa mu Ggombolola Ssaabaddu Kira.

Omutaka Gabunga Mubiru Ziikwa, asibiridde omubaka we entanda, okuba omuwulize eri Kabaka n’Obwakabaka, okukola emirimo egitwala Ekika ky’e Mmamba mu maaso.
Nga atuuzibwa, David Mubiru yeyamye okuweereza Ekika kye era wa kusookera ku kukumaakuma bazzukulu banne mu Kika kino okwagala n’okubunyisa enteekateeka z’Ekika zinnyikire mu bazzukulu ba Gabunga bonna.

Omwami w’Essaza Kyaddondo, Kaggo Hajji Ahmed Magandaazi Matovu asabye abakulu b’Ebika okubeera ekitundu ku buweereza obuli mu masaza kiyambeko mu kubunyisa enjiri y’obukulu bw’Ebika mu bantu ba Kabaka mu Masaza.











