Bya Yusuf Muwuluzi
Masaka -Buddu
Omubaka wa Lwemiyaga mu lukiiko lw’eggwanga olukulu, Theodore Ssekikubo, olwaleero nga 18/3/2021 agasimbaganye n’omulamuzi wa Kkooti ento e Masaka, Charles Yetetsi, olwemisango egimuvunaanibwa nga n’egimu gya 2009 ne 2010.
Emisango egivunaanibwa Ssekikubo kuliko ogwokugezaako okutta omuserikale mu 2009, okutataganya akalulu ka NRM mu 2010 ng’ayasa ebikozesebwa mu kulonda wamu n’okukuma omuliro mu balunzi b’ebisolo okuggulawo obutale ate ng’ebitundu by’e Ssembabule byaliko kalantiini olwa Kalusu mu Jan 2020.
Newankubadde Ssekikubo ne bannamateeka be okuli Medard Sseggona ne Alexanda Lule babaddewo mu kkooti, kibeewuunyisizza omuwaabi wa gavumenti, Stella Batuusa, okujja nga talina fayiro yamuwawaabirwa era bw’atyo n’asaba kkooti emuweeyo obudde anoonye fayiro gyeri kuba mupya mu woofiisi eno. Wano omulamuzi Yetetsi w’asinzidde n’ayongerayo okuwulira omusango guno nga 13/4/2021.
“Emisango egivunaanibwa gy’egyo emisango egyawozebwa mu kkooti eno yennyini okuva mu 2009, 2010. Wabula omulamuzi Sarah Mponye yagoba omusango guno obutakomezebwawo mu kkooti wabula ekyewuunyisa omuwaabi wa gavumenti yagukomezzaawo mu kkooti ate nga tebaajulira.” Bw’atyo Ssekikubo bw’ateegezezza.
“Ekyewuunyisa mu byobufuzi by’e Ssembabule, SSEKIKUBO buli lw’awangula akalulu bateekwa okumuletako mu kkooti.” Bw’atyo Medard Lubega Sseggona bw’ayogedde ku nsonga zino.
Ssekikubo yeewuunya okuba nga gavumenti y’emuwaabira kyokka ng’omusango ogumuvunaanibwa kaali kamyufu ka kibiina kyabyabufuzi ekya NRM nga ne Col. Habib Kanyarutokye gwe bamulumiriza okugezaako okutta w’amagye nga teyayina kyali kimuleeta mu kalulu ka NRM.
Ssekikubo agamba nti kiyinza okuba nga kivudde ku ky’okuba nga yavuddeyo n’alangirira okuvuganya ku kifo ky’omumyuka wa Sipiika wa palamenti nga bagenderera okumwonoonera obudde wamu n’okumusiiga enziro.
Mu kalulu ka 2011, Ssekikubo yavuganya ne Patrick Nkalubo kyokka ate kati Nkalubo y’omu kubabadde bazze okweyimirira Ssekikubo. Ono ne banne bagamba omuntu waabwe bamulanga bwemage.