Bya Ssemakula John
Kampala
Munnakibiina kya National Unity Platform (NUP), Muhammad Sseggirinya alayiziddwa ku bubaka bwa Kawempe North mu Palamenti y’e 11 era ono olumaze okukuba ebirayiro n’ategeeza nti ssente obukadde 200 ezigenda okumuweebwa okugula emmotoka ajja zigabira abalonzi.
Sseggirinya eyavudde ebweru w’eggwanga n’adda okulayira ku katuuti, agenze bamukwatiridde era bw’abadde ayogerako eri abannamawulire agambye nti agenda kufuba okulaba nti buli maka mu Kawempe bafuna ku buwoomi bwa ssente z’emmotoka zino.
Ono agamba nti kino akikoze okulaba ng’addiza ku bantu be abaamwesiga ne bamusindika mu Palamenti eno. Era kuno agenda kwogerezaako enteekateeka ya Segibox nga muno agenda kuba awa buli maka amanaku mu Kawempe emitwalo 10 buli mwezi.
“Sigenda kugula mmotoka mpya ng’enda kusigala nga nkozesa eno, ssente z’emmotoka ng’enda kuziwa bannakawempe.” Sseggirinya bw’ategeezezza.
Ono awadde eky’okulabirako ekyali e Bufalansa mu 1789 olw’okwejalabya kwa Kabaka waayo, Louis XVI n’omukyala Marie Antoinette, abaali mu bulamu obulungi ate nga bannansi baavu lunkupe.
“Bali mu kugula mmotoka za bbeeyi ng’abalonzi baabwe babonaabona olw’ebyobulamu ebibi, ebyenjigiriza bifu n’ebizibu ebirala. Nze saagala kubeera bwetyo y’ensonga lwaki obukadde 200 ez’emmotoka nziwadde bannakawempe.” Sseggirinya bw’akiggumiza.
Buli mubaka asuubirwa okuweebwa ssente obukadde 200 basobole okugulamu emmotoka ezinaabayamba okutambulizaamu emirimu mu kisanja kino eky’emyaka ettaano.
Sseggirinya agamba akyali mulwadde olw’ebyo ebyamutuusibwako mu kkomera e Kitalya era ng’asuubira okuddayo e Nairobi gy’amaze omwezi omulamba ng’ajjanjabwa ekibumba n’amatu.