Bya Ssemakula John
Kampala
Omubaka omukyala ow’essaza lya Kyotera mu Palamenti, Robinah Ssentongo afudde enkya ya leero.

Bino kirangiriddwa Sipiika wa Palamenti, Rebecca Alitwala Kadaga, enkya ya leero ku Lwokutaano bw’abadde aggulawo olutuula lwa Palamenti.
Okusinziira ku Sipiika Kadaga, Ssentongo afudde kya Ssennyiga Corona ekyamukwata gye buvuddeko.
Ssentongo ye mubaka omukyala owa disitulikiti y’e Kyotera eyasooka era ng’abadde yeesimbyewo ku kifo ky’ekimu ku kkaadi ya Democratic Party (DP).
Bino we bijjidde ng’ekirwadde kya Ssennyiga Corona kyongera okusaanyaawo abantu mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo era ng’abakulembeze ab’enjawulo bavuddeyo okukunga abantu okwekuuma ekirwadde kino.








