Bya Ssemakula John
Mulago
Omubaka omukyala akkiririra Disitulikiti ye Palisa mu Palamenti afudde.
Kitegeerekese nti, Omubaka Faith Alupo afiiridde mu ddwaliro lye Mulago olunaku lwa leero. Wadde wabaddewo ebigambibwa nti Alupo yafudde kirwadde ki COVID-19 naye abakungu mu ddwaliro lya Mulago bategeezezza nti kino tebanakikakasa.
Omukutu gwa Palamenti ogwa Twitter gukakasizza amawulire gano negutegeeza nti, “Palamenti etegedde ku ky’okufa kw’omubaka Faith Alupo, afiiridde mu ddwaliro e Mulago. Omwoyo gwe Omukama agulamuze kisa.”
Omubaka ono wa kibiina ki National Resistance Movement (NRM) era nga mu Palamenti abaddemu emyaka 2 gyokka nga yalangirirwa mu June wa 2018.
Kino kyaddirira okusazibwamu Munna FDC Achola Osupelem ku kifo kino olw’okukozesa ammanya agatali ku mpapula ze ez’obuyigirize.