Ntinda
Abeegwanyiza okukiikirira amasekkati ga Kampala, bakedde kugenda ku woofiisi z’ebyokulonda e Ntinda mu ngeri yakipowooze wakati ng’abeesimbyewo mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo bagenda maaso okwewandiisa mu nteekateeka eno, egenda okumala ennaku ebbiri.
Wadde Omubaka Muhammad Nsekero yabadde asuubirwa okutuukira mu bbugumu naye yatambudde mu kasirise okuva mu maka ge Bugoloobi okutuuka ku woofiisi z’akakiiko k’ebyokulonda e Ntinda.
Nsereko atambudde ne mukyala we n’abagenda okumusemba era ng’ategeezezza nga bw’atayadde kumenya mateeka gano kubanga bayinza okukikozesa okumulemesa okwewandiisa.
Ate ye bwe bavuganya Fred Nyanzi Ssentamu ali ku kkaadi ya National Unity Platform (NUP), ategeezezza nti okuyisa ebivvulu mu Kampala si kya magezi naddala mu kiseera ng’ekitebe kyabwe kyakamala okulumbibwa amagye ne poliisi.
“Si kya magezi okuyisa ebivvulu n’okuwerekerwa oluseregende lw’emmotoka nga tonnaba kumala kuwandiisibwa mu kadde kano nga twakamala okulumbibwa,” Nyanzi bw’ategeezezza.
Abakedde okwewandiisa olwaleero kuliko ababaka abalondebwa obutereevu okukiikirira amasaza ag’enjawulo, ababaka abakyala aba Disitulikiti n’ebibuga nga bano bonna bawera omugatte gwa 518 nga be bagenda okutuula mu palamenti y’ekkumi n’emu.
Mu biragiro ebyayisibwa akakiiko k’ebyokulonda, kalabula abeesimbyewo obutayisa bivvulu wamu n’okutambulirira mu luseregende lwa mmotoka, kiyambe okutangira ekirwadde kya ssennyiga Corona.
Akakiiko kaalagidde abeesimbyewo okugenda n’abantu bana okwewandiisa, enteekateeka eno egenda kumala ennaku bbiri era egenda kumalirizibwa enkya ku Lwokutaano ku ssaawa 11:30 ez’olweggulo.