Bya Jesse Lwanga
Mukono
Omubaka w’ekibuga kya Mukono mu Palamenti, Betty Bakireke Nambooze, yasimattuse okukubwa amasasi akawungeezi k’eggulo ku Lwokutaano e Namayiba, bwe yabadde anoonyeza munnakibiina kye ekya NUP akalulu.

Nambooze yabadde akuyegera munnakibiina kye, Susani Bogere Nsensebuse, eyeesimbyewo ku bwassentebe bw’eggombolola y’e Nakisunga era ng’eno abapoliisi gye baakubidde emmotoka ye ey’ekika kya Landcruiser UAW 903Y amasasi.
Abaabaddewo balumiriza akulira poliisi ye Nakisunga, Asp Asio Margret ne basajja be, okuwandagaza amasasi mu bawagizi abaabadde ku kkampeyini ya Nsesebuse olwa kafyu, okukkakkana nga babiri bamenyese amagulu.
Ssemuyingo Noah ne Samwiri Muwonge be baddusiddwa mu ddwaliro nga bali mu mbeera mbi.
Era waliwo n’omwana ow’emyezi ebiri eyalinnyiddwa abantu mu kavuvung’ano oluvannyuma lw’okuva mu mikono gya maama we era ono naye atwaliddwa mu ddwaliro ng’ali mu mbeera mbi.
Ab’enganda z’abaakubiddwa amasasi okuli Nagawa Esther bavumiridde ekikolwa kino nga bagamba nti abantu baabwe tebaabadde mu lukung’aana luno ng’amasasi gaabalumbye bbali.
Ate ssentebe w’eggombolola y’e Nakisunga, Ssekikubo Mubaraka, omusango agutadde ku Mubaka Nambooze olw’okukuba olukung’aana olumenya amateeka, abatuuze be ne balumizibwa.
Wabula ye gwavuganya naye Bogere Nsensebuse alumiriza Ssekikubo okuvaako obuzibu kubanga ye yayise poliisi era poliisi olwatuuse n’etandika okukuba amasasi era agamu negakwata emmotoka ya Nambooze.
Ye omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano,Patrick Onyango, akakasizza okukubwa kw’abantu amasasi era nga ategeezezza nti poliisi yabadde ekwasisa mateeka.
Onyango agambye nti abapoliisi baabadde balawuna naye olwatuuse mu katawuni k’e Namayiba ne basanga nga Nambooze ne Rev. Bakaluba Mukasa bakubyewo olukung’aana kyokka bwe baagenze okwogera nabo, abawagizi ne batandika okubakuba amayinja ne poliisi kwe kwerwanako.
Ono agasseeko nti waliwo amasasi agaawabye ne gakwata abantu ababiri mu magulu n’ebisambi, kyokka ng’okunoonyereza kukyagenda mu maaso.