Bya Musasi Waffe
Kampala
Omubaka omukyala akiikirira disitulikiti y’e Rakai mu Palamenti, Juliet Ssuubi Kinyamatama, alangiridde nti waakwesimbawo ku bwasipiika bwa Palamenti ey’ e 11.
Kinyamatama asinzidde mu Palamenti n’ategeeza nti asazeewo okwenyigiramu kubanga muvubuka era olw’ensonga nti be basinga obungi akkiriza nti y’asobola okuteeka ensonga zaabwe ku mwanjo.
Ono ategeezezza nti singa anaawangula ekifo ky’Obwasipiika ajja kulaba ng’ebbula ly’emirimu lirwanyisibwa nga wabaawo ebitundu 50 ku buli 100 nga bavubuka ku bantu abaweebwa emirimu mu bitongole bya gavumenti ebitali bimu.
Mu birala ono by’asuubizza okukola kwe kulaba kkampuni z’Obwannannyini eziwa abavubuka emirimu zisonyibwa omusolo okusobola okulwanyisa ebbula ly’emirimu. Kinyamatama ye mukazi yekka eyeesowoddeyo okuvuganya Kadaga mu lwokaano olulimu omumyuka we Jacob Oulanyah, Omubaka Ssemujju Nganda ne munnakibiina kya Democratic Party, Richard Ssebamala. Kino kitegeeza nti bannakibiina kya NRM balina abantu basatu kwe balina okulonda Sipiika addako nga ku bano kuliko; Sipiika Rebecca Kadaga, Jacob Oulanyah ne Juliet Kinyamatama.
Ku nsonga y’okubeera nti waliwo abamutaddemu ssente abeeko gw’ayonoonera obululu Kinyamatama agamba nti ekimutanudde y’embeera abavubuka gye balimu.
Bino we bijjidde ng’ababaka abalonde aba NRM bagenda kukeberwa ekirwadde kya Ssennyiga Corona olwaleero okulaba bwe bayimiridde wakati nga beetegeka okugenda e Kyankwanzi gye bagenda okusisinkanira ssentebe w’ekibiina era basalewo ani agenda okufuuka Sipiika wa Palamenti anaakubiriza Palamenti y’e 11.