Bya Betty Namawanda
Kyotera – Buddu
Gibadde miranga n’okwazirana okuva mu beng’anda n’emikwano ssaako ne bannabyabufuzi abeetabye mu kuziika abadde omubaka wa Palamenti ya East Africa, Mathias Kasamba ku kyalo Simba Katovu mu Kakuuto.
Emikolo gy’okuzika gitandiise n’ekitambiro Kya mmisa ekikulembeddwamu Omusumba w’essaza ly’e Masaka, Serverus Jjumba era ono asinzidde wano n’avumirira ebikolwa eby’okutulugunya ebikolebwa ku bannamawulire nga n’abamu battiddwa.
Omusumba Jjumba ayogedde ku mugenzi ng’abadde ateegaana ddiini ye n’avumirira ekya bannabyabufuzi okukweka amannya g’eddiini yaabwe ne beekweka mu mannya amaganda n’amalala.
Ababaka ab’enjawulo Okuli; John Paul Lukwago Mpalanyi, Fortunate Rose Nantongo ne Geoffrey Lutaaya, nabo boogedde ku mugenzi ng’abadde omusajja atanyiiganyiiga ate abadde abaagaliza okukulaakulana nga bayita mu bulimi.
Omumyuka wa Pulezidenti wa NUP mu Buganda, Mathius Mpuuga Nsamba, ng’abadde mukwano gw’omugenzi, atenderezza omugenzi olw’obutasosola mu bantu naddala mu bibiina by’obufuzi.
Obwakabaka bwa Buganda bukiikiriddwa Ppookino Jude Muleke era y’akiikiridde Katikkiro Mayiga. Atenderezza omugenzi olw’okwagala Buganda era atambuzizza ebyobufuzi wamu n’enkulaakulana.
Ate ye Ssaabawandiisi wa NRM, Justine Kasule Lumumba, agambye nti omugenzi abadde mpagi nnene nnyo mu kibiina. Sipiika wa Palamenti ya East Africa, Martin Nguga, ategeezezza abakungubazi nti omugenzi abadde mukulembeze mulungi era ayagala okukolera awamu. Amyuka sipiika wa Palamenti y’eggwanga, Jacob Oulanyah nga y’abadde omukungubazi omukulu, atenderezza Omugenzi ng’akoze omulimu ogw’ettendo mu baana abawala okuva engulu.
Omulambo gwa Kasamba gwasoose kutwalibwa mu kisaawe ky’e Katovu, abantu ne bamusiibula oluvannyuma n’aziikibwa mu makaage ku kyalo Simba-Katovu mu ggombolola y’e Kakuuto mu Kyotera era bamukubidde amasasi 24 okusiima emirimu gy’akoze.
Kasamba yafiira mu ddwaliro ly’e Nakasero gy’abadde yatwalibwa okujjanjabwa oluvannyuma lw’okufuna ekizimba ku bwongo.