URN
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/01/Ssekikubo-in.png)
Omubaka wa palementi akiikirira Lwemiyaga kisangibwa mu disituliki ye Sembabule Theodore Ssekikubo ateereddwa kkooti etuula mu Kibuga Masaka kukakalu kabukadde 10. Ssekikubo yakwtibwa poliisi wiiki ewedde ku Lwokutaano oluvanyuma lw’okumuvunaana okukuma omuliro mu bantu bweyagezaako okuggulawo akatale k’ente mu kabuga ke Lwemiyaga poliisi kyeyagamba nti kyali kikontana n’ekiragiro kya minisitule ekola ku by’amagana eyateeka karantiini ku kutambuza y’ente mu Sembabule. Wabula weyatwaliddwa mu kkooti ate Ssekikubo yaguddwako gwa kusangibwa n’ammundu mu bumenyi bwamateeka wamu n’okukuma omuliro mu bantu.
Omulamuzi wa kkooti ento e Masaka Deogratius Ssejjemba yeyatadde Ssekikubo oluvanyuma lw’okweyimirirwa abantu bataano okuli ababaka ba palementi, Barnabas Tinkansimire, Anifa Kawooya, Mary Kabanda, Florence Namayanja wamu ne kansala akiikirira e ggombolola ye Lwemiyaga ku disitulikiti e Sembabule.
Emisango egivunaanibwa Ssekikubo kigambibwa yagizza mu Augusto wa 2010 mu kalulu k’okusunsulamu anakwatira NRM bendera mu kalulu akaaliwo mu 2011. Emisango gyonna Ssekikubo yagyeganye era nga ayitira mu munnamateeka we Medard Lubega Sseggona, Ssekikubo yasabye kkoooti emuyimbule awoze ng’ava bweru. Sseggona yagambye kikyamu Ssekikubo okuggulwako emisnago egyagobwa kkooti mu 2010 ng’ate yakwatibwa ku misango mirala nnyo.
Omuwolereza wa gavumenti Amina Akasa, yagezezaako okulemesa Ssekikubo okweyimirirwa ng’agamba nti tagondera biragiro bya kkooti wabula nalemererwa okuleeta obujulizi obukakasa kino.
Omulamuzi yategeezezza nti Ssekikubo yabadde aleese obamweyirmidde abalina omuzinzi nga n’olwekyo tewabadde nsonga yonna emulemesa kweyimirirwa. Bwatyo yamulagidde eddayo mu kkooti omwezi ogujja nga 18. Okuteebwa kwa Ssekikubo kwasanyudde nnyo abawagizi be abaayisizza ekivvulu mu nguudo. Kino kyawalirizza abakuuma ddembe okubakubamu omukka ogubalagala okubaguguumbulula.