Musasi waffe
Katikkiro Charles Peter Mayiga agaddewo olusirika lw’abakulembeze mu Bwakabaka bwa Buganda olumaze ennaku bbiri nga luyindiira mu Ssaza lya Kabaka e Ssese. Mu bubaka bwatisse Katikkiro, Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, asiimye abeetabye mu lusirika luno n’ategeeza nti mumativu nti amagezi gebasaze, gajja kuyamba nnyo ebitongole by’Obwakabaka. Mububakabwe, Mayiga ategeezezza nti olusirika lwamugaso nnyo kubanga luyamba okumanyagana ng’abaweereza bw’Obwakabaka.
ategeezezza nti teri muweereza munene kusinga omulala, nga no’lwekyo, kyetaagisa okukolera awamu. Kubisaliddwawo, Mayiga ategeezezza abeetabye mu lusirika luno nti kyetaagisa okubaawo n’enkola ebirondoola. “Enteekateeka nnamutaayika gyetukola erina okulondoolwa okulaba byetugattamu, byetutoolamu, n’okulaba nga byetwateekamu tubituukiriza,” Mayiga bweyagambye. Akakiiko akanaalondoola nnamutaayiika eno kakulirwa Owek. Twaha Kigongo Kaawaase, Omumyuka wa Katikkiro asooka era minisita avunanyizibwa kubyemirimu. Abalala abakaliko kuliko; Oweek. Robert Waggwa Nsibirwa,omumyuka wa Katikkiro Owookubiri era Omuwanika, Oweek Kyewalabye Male, minisita avunanyizibwa ku by’obuwangwa, amasiro, n’embiri, Omuk. Josephine Nantege, akulira eby’emirimu mu Bwakabaka, Omuk. Robert Nsereko, ku lwa Bassentebe ba boodi bonna, Oweek. Isaac Mpanga ku lw’olukiiko lwa Buganda, n’omukungu Anthony Wamala ku lwa Bassenkulu b’ebitongole. Ku lulwe, Oweek. Nsibirwa asiimye nnyo abo bonna abeetabye mu lusirika, ku lw’amagezi n’obudde bwebawaddeyo. “Ebigendererwa tubituuseeko kubanga abakulembeze mu Bwakabaka ku mitendera gino bategedde biki ebikolebwa mu bitongole by’Obwakabaka, bategedde wa Obwakabaka gyebwagala okulaga,” Nsibirwa bwategeezezza. Agasseeko nti amagezi agaawereddwayo bagenda kulaba butya bwebagayingiza mu nnamutaayiika. Ayongeddeko nti era olusirika lubayambye nnyo okwongera okunyweza obwasseruganda, kyeyayogeddeko nti kikulu nnyo nga batambuza emirimu. “Kubanga buli kintu kitambulira ku kukolagana,” Olusirika luno olwatandika ku Lwokubiri lubadde lwetoololera ku mulamwa ogugamba butya Obwakabaka gyebuyinza okuyingizamu esimbi ez’olutentezi.