• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Olunaku lwa Bulungibwansi ne Gavumenti ez’Ebitundu 2025

Gambuuze by Gambuuze
October 8, 2025
in Amawulire
0 0
0
Olunaku lwa Bulungibwansi ne Gavumenti ez’Ebitundu 2025
0
SHARES
484
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Gerald Mulindwa

Busukuma – Kyaddondo

Obwakabaka bwa Buganda bukuzizza olunaku lwa Gavumenti ez’Ebitundu ne Bulungibwansi okujjukira ameefuga gaabwo.

Omukolo guyindidde ku mbuga ye Ggombolola Musaale Busukuma mu Kyaddondo, ku mulamwa, tunnyikize bulungibwansi n’Obukulembeze bw’Ebitundu nga twettanira tekinologiya mu bavubuka tuzze Buganda ku ntikko.

Ssaabasajja Kabaka aweerezza obubaka obusomeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, mw’asabidde abantu ba Buganda okussa essira ku Bulungibwansi, okutumbula obukulembeze bw’ebitundu, n’okukozesa tekinologiya mu ngeri esobola okuzimba Buganda ejjudde obumu n’enkulaakulana eneetuusa Buganda ku ntikko.

Katikkiro Mayiga mu bubaka ageraageranyizza obuweereza bw’Abaami ba Kabaka nga mu nnyumba eyetaaga omusingi omuggumivu okusobola okuyimirirawo obulungi nga n’obuweereza okwefaanaanyirizaako ennyumba bwe bubeera n’omusingi ogutakyuka, era bweguba omunafu ennyumba tenywera, n’olwekyo kikulu nnyo okunyweza omusingi gw’obwami naddala ku mitendera egitandikirwako.

“Omulimu gw’Abaami ba Kabaka omukulu ke kufuna obubaka obuva ewa Kabaka okubutuusa ku bantu yonna gye bali awatali kukyusa wadde ekintu kyonna” Katikkiro Mayiga. Ono akubirizza Abaami ba Kabaka naddala ab’Amasaza okunyweza abatongole mu byalo kubanga be baami ba Kabaka abasookerwako era gwe musingi ogusookerwako omutendera gw’Obwami.

Owoomumbuga era asinzidde wano n’akubiriza abantu okweyonja era bakimanye nti bulungibwansi atandikira ku bbo nga bayonja emibiri gy’abwe, amaka gaabwe, n’ebifo mwe bakolera. Alabudde ku bukyafu obuvaako endwadde n’asaba abantu ku mulembe guno Omutebi buli maka gabeeremu amazzi amayonjo ag’okunywa n’okunaaba engalo.

Ssentebe w’enteekateeka z’omukolo guno era Minisita wa bulungibwansi, obutondebwensi n’Ekikula ky’Abantu, Oweek Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja, agambye nti kikulu nnyo okunyweza obukulembeze kubanga enteekateeka z’obwakabaka okugeza bulungibwansi zitambulira mu bukulembeze bw’Abaami ba Kabaka okusobola okutuuka ku bantu.

Ku mayiro ya bulungibwansi, Oweek Mariam Mayanja ajjukizza abantu okukuuma ebitundu byabwe nga biyonjo omuli okulima enguudo, okusimba emiti, okugogola emyala era kino bakitwale nti buvunaanyizibwa bwa buli muntu.

Minisita wa gavumenti ez’Ebitundu, okulambula kwa Kabaka n’ensonga za Buganda ebweru, Oweek Joseph Kawuki, annyonnyodde nti e Ssaza okuwangula empaka za Gavumenti ez’Ebitundu, lituukiriza ebyetaago ebipimwa ku lupimo mu bukulembeze, okutuuza enkiiko, endabika y’embuga, enkuuma y’ebiwandiiko, n’okussaawo enkulaakulana eyingiza ensimbi ezirabirira emirimu gy’e ssaza.

Essaza Kyaddondo lye lyasukkuluma ku malala mu mpeereza y’emirimu, bakwasiddwa engabo ne satifikeeti ey’obuwanguzi, ate n’eggombolola ezaasinga endala ziweereddwa ebirabo.

Omukolo gwetabiddwako, omumyuka w’omukulembeze wéggwanga H. E Edward Kiwanuka Ssekandi, ba Katikkiro abawummuze Joseph Mulwanyammuli Ssemogerere, Dan Muliika, Abaami ba Kabaka, Bannadiini, Bannabyabufuzi, Abaana b’amasomero n’abantu ab’enjawulo.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.