Olulyo Olulangira olwe United Arab Emirates lutonedde Obuganda ebitabo eby’enzikiriza y’Obuyisiraamu (Quran) lukumi (1000) awamu n’ebiwempe (carpets) bitaano ebyokutuulako mu muzikiti.
Sheikh Saeed Bin Makhtoum Bin Rashid Al Makhtoum owe Jebel Ali,mu Dubai yatonye ebitabo bino.
Bino bizze oluvannyuma lw’okukyala kwa Nnabagereka Sylivia Nagginda mu Lubiri e Jebel Ali, nga 17 February 2019 n’ekigendererwa eky’okunyweza enkolagana n’obwakabaka bwa Buganda.
Olwaleero omumyuka wa Katikkiro asooka era Minisita w’eby’emirimu n’obuyiiya, Prof. Twaha Kigongo Kaawaase, akwasizza mu butongole abantu ab’enjawulo ebitabo bino bagende banyikize wamu n’okusasaanya enjiri ya Allah subhanahu wa ta’ala.
Owek Kaawaase abasibiridde entanda ey’okwekwata Quran nga eky’okulwanyisa mu biseera ebizibu.