Bya Gerald Mulindwa
Kaweeri – Buweekula
Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Oweek Patrick Luwaga Mugumbule, abangudde olukiiko lw’essaza Buweekula ku nkubiriza y’olukiiko olugwa mu nteekateeka y’obwakabaka entuufu.

Olukiiko olw’okubangula Abaami ba Kabaka bano lutudde ku mbuga y’e Ssaza Buweekula e Kaweeri, lugendereddwamu okulaba nga enkiiko z’obukulembeze mu bwakabaka zikubirizibwa bulungi okuviira ddala ku Ssaza okutuukira ddala wansi ku butongole.
Oweek Patrick Luwaga Mugumbule abadde wamu ne Minisita w’Olukiiko, Kabineeti n’ensonga ez’enjawulo mu Woofiisi ya Katikkiro, Oweek Noah Kiyimba, alambise ku nnyambala, entuula, enteesa, enkubaganya y’ebirowoozo n’enteekateeka y’ebiteeso, nga bwe birambikiddwa mu nnambika y’olukiiko lwa Buganda eyalungamizibwa Ssaabasajja Kabaka kubanga ye nnanyini lukiiko era byonna ebiteesebwa biri mu buwufu bwa Nnamunswa.
Oweek Patrick Luwaga Mugumbule, annyonnyodde nti essaza lilina okubeera n’ekiiko bbiri. 1. Olukiiko olufuzi (executive), luno lukubirizibwa Omwami ow’Essaza era lutuulamu abakulira ebitongole ku Ssaza.2. Olukiiko olukozi; luno lwe lukiiko olunene olutuulwamu n’abaami b’e ggombolola, luno lukubirizibwa Omukubiriza w’olukiiko lw’e Ssaza.

Enzirukanya y’olukiiko luno erina okugoberera ennambika entongole eraga enkiiko meka ezituuzibwa, omulamwa oguteeseddwako, okuwangana ekitiibwa, fayiro y’ebiteeseddwako, ebiteeseddwako bigobereddwa n’ebirala. Agamba bwewabaawo ensonga yonna eteeseddwako mu lukiiko, oyo gwekikwatako ajongerayo waggulu era n’afuba okulaba nga egguka.
Asabye abakiise abakiikirira Buweekula mu lukiiko lwa Buganda nabo baweebwe omukisa bateese mu lukiiko lwe Ssaza ebiteeso byabwe babigabaneko ne bannaabwe. Okuteesa mu budde:Oweek Mugumbule agamba nti olukiiko terusaana kukandaalirira, essaawa bbiri zokka zimala okuteesezaamu bye baagala kisobozese abakiise okugenda ku mirimu gyabwe emirala.

Katumba Godfrey, Omukubiriza w’Olukiiko lw’essaza Buweekula, asiimye enteekateeka eno ebalambika mu nzirukanya y’emirimu egy’abakwasibwa Ssaabasajja Kabaka, n’okugaziya ku kumanya kwabwe ku nsonga z’obwakabaka era kibawadde obuvunaanyizibwa okulaba nga balondoola ebivudde mu nkiiko bigguke ku baami ba Kabaka ab’emiruka n’abatongole.
Oweekitiibwa Noah Kiyimba, ayongedde n’akkaatiriza obukulu bw’ensisinkano eno nti ekola nga omuyungagano ogw’olukiiko lwa Buganda n’enkiiko z’Essaza okutuukira ddala wansi ku butongole.

Akuutidde Abaami Kabaka batunuulire ensonga eyabalondesa Ssaabasajja Kabaka mu bukulembeze bwe balimu, eyo yebagatta nga abaami ba Kabaka, wano w’asinzidde n’asaba banna Buweekula obuteetuulako wabula bakozese omukisa gwonna ogubajjidde bakulaakulanye abantu, awatali kutaliza oba guvudde mu gavumenti ya wakati oba eri omuntu ssekinnoomu, oba mu bwakabaka awo emirimu gibanguyire.

Kaweefube w’okutalaaga Amasaza okubunyisa enjiri y’enzirukanya y’enkiiko mu bukulembeze bw’Obwakabaka, ekutte omwaka ogw’okubiri bukya eteekebwa mu nkola era Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda yakatuuka mu Masaza 7 olw’enteekateeka eno.











