Musasi waffe
Olwaleero Omumyuka wa Katikkiro wa Buganda Owookubiri era nga ye Muwanika, Oweek. Robert Waggwa Nsibirwa ayanjulidde Olukiiko lwa Buganda embalirira y’Obwakabaka ey’omwaka 2020/2021.
Embalirira eno ya buwumbi 109,617,040,736 ez’essente za Uganda.
Eno eriko wansi bw’ogeraageranya ku mbalirira y’omwaka oguwedde eyali ey’obuwumbi 121.
Okusinziira ku Oweek. Nsibirwa omwaka oguwedde Obwakabaka bwasobola okukukungaanya obuwumbi 100.
Kino kitegeeza nti, embalirirra y’omwaka oguwedde yasobola okutuukirizibwa n’ebitundu 80 ku buli kikumi.
“Buwumbi 21 obukola ebitundu 20 ku buli kikumi tebwafunise kubanga mu kitundu ekisembayo mu mwaka gw’ebyensimbi gwetumalako ennyingiza yagwa ebitundu kyenkana 95% kubanaga, amatendekero gaggalwa, woofiiisi z’eby’etakka zaggalwa, abapangisa baanafuwa mu nsasula y’esimbi, z’obupangisa, gavumeneti yawakati yayisa ekiragiro nti ebitongole byayo byonna biyimirize okusasula omuntu yenna, Luwalo lwaffe ne satifikeeti byayimirira, abanywanyi wamu ne bannamikago bonna baafuna okwekanga ne bayimiriza emirimu,” bwatyo Oweek Nsibirwa bwategeezezza Olukiiko.
Okusinziira ku Muwanika, embeera ya ssenyiga kolona era yeereetedde embaliria y’omwaka guno okuba entonoko bwogeraageranya ne y’omwaka oguwedde.
Kisuubirwa nti era amakubo Obwakabaka mwebubadde bujja essente era gagenda kugenda mu maaso nga gakosebwa omwaka guno.
Omwaka gw’ebyesimbi guno gugenda kwetooloolera ku miramwa emikulu esatu okuli:
- Buganda eyeegombebwa omuli abantu abali mu mbeera ennungi mu byenfuna, ebyobulamu, ebyenjigiriza n’emirimu egyeyagaza.
- Okutumbula ebyenfuna mu Buganda nga tuttanya emikisa gyonna egiriwo n’okusoosowaza emikago ne bamusiga nsimbi
- Okutumbula embeera z’abantu mu Buganda naddala abeetaaga okubeerwa nga tunyweza essiga ly’ennono yaffe ery’obuntubulamu.