
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Olukiiko lwa Buganda olwomulundi ogwa 31 olutuula olusooka olubadde lukubirizibwa Sipiika Patrick Luwaga Mugumbule luyisizza ebiteeso bitaano nga ku bino ebiteeso bisatu ku bisembddwa, kwebaza Ssaabasajja Kabaka olw’okulambika obulungi Obuganda ku nsonga ezitali zimu nga bino bisomeddwa minisita w’ensonga z’Olukiiko Noah Kiyimba.
Olukiiko era lusembye ekya Abataka abakulu ab’Obusolya okufuna okulambikibwa kwa Ssaabasajja Kabaka nga tebanaba kubaako nsonga zonna za kwekulaakulanya zebenyigiramu wamu n’okulaba nga Ssaabataka abalungamya ku nsonga zonna ez’Olukiiko lw’Abataka
Abakiise era beebazizza Kabaka olwa kaweefube gwakulembeddemu mu myaka 30 ow’okuzza Buganda ku ntikko omuli okutumbula eby’obulamu, okutumbula eby’obulimi n’omutindo gw’embeera z’abantu mu bulamu obwabulijjo
Olukiiko lusembye nti ensonga enkulu ennyo mu kwogera kwa Ssaabasajja Kabaka zongere okuteesebwako mu bukiiko bw’olukiiko obw’enjawulo.
Ababaka mu Lukiiko lwebaza nnyo Kabaka olw’okulonda baminisita abaggya mu Bwakabaka bwa Buganda era beebazizza nnyo abawummudde olw’ettofaali lyebatedde ku kaweefube ow’okuzza Buganda ku ntikko.
Mu Lukiiko luno Abaami ba Kabaka bakubye ebirayiro okuweereza nokubeera abawulize eri Kabaka.
Olukiiko luno era luteesezza ku nsonga ez’enjawulo Beene zaabadde ayogerako ku mirundi egisembyeyo ng’alambiseeko eri Obuganda era neluwera okuteeka ebiragiro bino mu nkola.
Ensonga zino Katikkiro azittaanyiza okusobola okugobererwa obulungi baminisita n’okuziteekesa mu nkola.
Olukiiko luno olukubiriziddwa Sipiika Owek. PAatrick Luwagga Mugumbule, lwatandise nakulayiza baami ba Kabaka beyawa obwami nokukola enkyukakyuka mu baminisita kyokka abo bokka ababadde tebakiika mu lukiiko lwa Buganda newankubadde balina ebifo byobwami bebakubye ebirayiro.
Bano kubaddeko Owek. Dr. Anthony Wamala, Owek. Robert Sserwanga, Owek. Ahmed Matovu Magandaazi, Owek. Ssempebwa, n’Owek. Jane Bakalikwira era Ssaabawolereza wa Buganda Owek. Christopher Bwanika yakoze omulimu guno.