
Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Bannalinnya, Abalangira n’Abambejja, Abataka abakulu ab’Obusolya, Baminisita b’Obwakabaka, Abakiise ba Palamenti, Abakiise mu Lukiiko lwa Buganda, ab’Amasaza n’abaami ba Kabaka, Bannaddiini, abakulembeze ab’ebitongole bya gavumenti eyawakati, abagenyi abakulu ab’enjawulo, abagenyi baffe mwenna, tusanyuse nnyo okubalabako.
Okusooka tukulisa nnyo abaami abaweereddwa obuvunanyizibwa obutali bumu era tubaagaliza okuweereza obulungi, twebaza ne bannaffe bonna abawummudde mu buweereza bwa buli ngeri wano mu Bwakabaka olw’okubeera abawulirize n’ettoffaali lyemutadde mu kuzimba Buganda, mwebale nnyo mwebalire ddala.
Abeyanzizza Obwami tubakuutira okubeera eky’okulabirako era ekifaananyi eky’obuweereza obulungi nga mwemuli obuwulize era obumalirivu obutaliimu nkwe. Twagala abavubuka baffe n’abantu bonna, okwegomba obuweereza bwammwe, n’okulaga nti tusobolera ddala bulungi, okutuusa obuweereza obulungi eri abantu baffe mu mukwano, nga tugoberera amateeka awamu n’ennono.

Tusaba n’abantu baffe mwenna okwetegereza obuweereza bw’abaami bano, abaami ba Kabaka, okulaba nga batuukiriza obulungi empeereza yabwe. Kaakati njagadde okwogerako ku nsonga ey’obulimi. Newankubadde nga tukyalina obuzibu mu nsonga ey’obulimi naddala ku butale n’okugwa kw’emiwendo gy’ebintu byetulina, naye tuleme kukoowa.
Era tusaba ne gavumenti okutwala eby’obulimi ng’essomo ekkulu ennyo era lisomesebwe okutuuka mu siniya, kisobozese abaana baffe okuyiga eby’obulimi nga bakyali mu masomero. Ensonga endala, tukyawulira abantu baffe abasengulwa ku ttaka mu bitundu ebitali bimu. Bwebagenda mu mbuga z’amateeka kitwala ebbanga ddene okuwuliriza emisango egikwata ku ttaka.
N’olwekyo tusaba nti abo abalamula emisango bawulirize, okusalawo emisango egyo mu bwangu. Tuddamu okuyozaayoza bannaffe abalondeddwa mu buweereza obw’enjawulo, tubasaba obutaswaza Bwakabaka era tubaagaliza emirembe. Mwebale nnyo, Olukiiko lugguddwawo.









