Bya Ssemakula John
Kampala
Munnakibiina kya Forum for Democratic Change (FDC), Godfrey Ekanya, abotodde ekyama nga bwebali entegeka ne Kadaga okusobola okuwangula aba National Resistance Movement (NRM) mu kalulu ka Sipiika wabula ne bagigwamu ng’akalulu tekannaba.
Okusinziira ku Ekanya era omubaka wa Tororo North mu Palamenti, baali bakkiriziganyizza ng’oludda oluvuganya, okusaddaaka omubaka Ibrahim Ssemujju Nganda, bawagire Rebecca Kadaga olwo enkambi ye nayo ewagire owa FDC Yusufu Nsibambi ku ky’omumyuka wa Sipiika, naye entegeka ne zigwa butaka.
“Pulaani yali yakuwagira Kadaga ku olwo omumyuka we abeere Nsibambi naye National Unity Platform (NUP) nayo yali eyagala kuleeta muntu naye n’ebiggyamu enta,” Ekanya bwe yagambye.
Kigambibwa nti NUP yali ereeta Shamim Malende naye wakati ng’akalulu katuuse, bano beegatta ku Kadaga okusobola okuvuganya Jacob Oulanyah.
Gye byaggweeredde nga Oulanyah akalulu akawangudde ku bululu 310 era Ekanya agamba nti oluvannyuma lw’okuwangula ku bwasipiika baagezezzaako bawangule eky’omumyuka.
“Twakizuula nti Nsibambi ne Nsereko bonna basiraamu ne tusaba amulekere kyokka ne bigaana. Era wano kye twakola kwe kugezaako okwogerezeganya ne NRM batuleke naffe tutwale eky’omumyuka.” Ekanya bwe yalambuludde.
Ate ye omubaka wa Kilak South mu Palamenti , Gilbert Olanya, agamba nti obutakwatagana mu ludda oluvuganya kye kyabavuddeko okuwangulwa.
“Kituufu nga Opozisoni tetwayogeza ddoboozi limu ndowooza lwakuba tuli batono. Bwe mubeera abatono eddoboozi lyammwe terigenda wala. Ffenna ne bwe twandironze Ssemujju era teyandiyiseemu.” Olanya bwe yannyonnyodde.
Wabula Ssemujju agamba nti ng’oludda oluvuganya, wadde batono naye baalina okwebeereramu ku nsonga enkulu ng’eno.