Bya Ssemakula John
Kampala
Oludda oluvuganya mu Palamenti lusigadde lwemagaza oluvannyuma lw’ebifo byonna okuwangulwa ekibiina ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement (NRM) okuwangula ekifo kya Sipiika wamu n’omumyuka we abanaakubiriza Palamenti y’e 11.
Waabaddewo embiranye wakati wa banna NRM okuli; Rebecca Kadaga ne Jacob Oulanyah era wadde Oulanyah yabadde aweereddwa kkaadi y’ekibiina Rebecca Kadaga, yalemeddeko n’avuganya ku bwannamunigina wabula n’awangulwa Oulanyah.
Abadde Sipiika Kadaga yakedde e Kololo ewabadde wagenda okulonderwa era yalabiddwako ng’akuba obusimu ekyalaze nti yabadde mwetegefu okuyimirirawo ku lulwe avuganye.
Kadaga yasembeddwa omubaka wa Luuka South era munnakibiina kya NRM, Stephen Kisa Bakubalwayo, era ekiteeso kino kyawagiddwa omubaka wa munisipaali y’e Busia, Geoffrey Macho atalina kibiina.
Ate ye Oulanyah yasembeddwa Isingiro North mu Palamenti, Bright Rwamirama.
Olw’embeera ey’obutakwatagana mu NRM abamu ku bagoberera ensonga z’ebyobufuzi baalowoozezza nti kino kisobola okuwa obuwagizi obwa wamu okuva mu ludda oluvuganya eri omubaka wa opozisoni yekka eyabadde mu lwokaano Iuno, Ibrahim Ssemujju Nganda. Ssemujju eyabadde asembeddwa munnakibiina kya National Unity Platform (NUP) Allan Ssewannyana, yabadde alina obusobozi okuwangula akalulu kano.
Gye byaggweeredde nga Ssemujju Nganda afunye obululu 15 bwokka wadde n’oludda oluvuganya lulina abantu abawerera ddala mu Palamenti eno. Omukisa omulala eri oludda oluvuganya gwabadde ku kifo ky’omumyuka wa Sipiika okwabadde munna FDC, Yusuf Nsibambi ne Muhammad Nsereko atalina kibiina.
Mu kalulu kano, Nsibambi yafunye obululu 35 ate Nsereko n’afuna obululu 24 olwo ate munnakibiina kya NRM, Anita Among n’awangula n’obululu 415.
Kino kitegeeza nti oludda oluvuganya lwalemeddwa okukkaanya era bangi ku bantu baalwo akalulu baakawadde munnakibiina kya NRM.
Waasoose kubaawo katemba, omubaka w’ekibuga kye Mukono, Betty Nambooze bwe yasituse n’asemba Moses Ali okubeera omumyuka wa Sipiika era kino kyalaze nti oludda oluvuganya lwabadde terulina kipya kyonna kyakulaga.
Katemba yeeyongedde munnakibiina kya FDC akiikirira Kioga Okot P Bitek okusemba Muhammad Sseggirinya okuvuganya ku kifo ky’omumyuka wa Sipiika ekintu ekyaleeseewo enseko mu babaka.
Oluvannyuma lw’okulonda, Pulezidenti Yoweri Museveni yategeezezza nti yabadde asobodde okwogereza ababaka okuli aba UPC ne DP okuwagira bannakibiiina kye era nalaga essanyu.