Bya Charles Peter Mayiga
Abantu ba Ssaabasajja Kabaka mwenna abampuliriza olwaleero nga musinziira mu maka gammwe n’abatonotono abali ku mirimu mbalamusizza nnyo.
1. OKWANIRIZA
Mbeebaza emirimu gyonna gye mukolera mu maka gammwe nga tukyali mu muggalo ate n’abo abakolera mu makakkalabizo ag’enkizo Gavumenti ge yawa olukusa okukola emirimu gyago. Twebaza Katonda akyatukuumye ffenna nga bannayuganda ne tuba nga tetunnafunayo muntu waffe ali mu ggwanga munda atirimbulwa kirwadde kino ki lumala bantu.
2. SSAABASAJJA KABAKA
Mukama waffe Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II gy’ali mulamu bulungi, ateredde ntende ku Namulondo ya bajjajjaabe alamula Obuganda.
a) Amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka
Nnina essanyu okutegeeza Obuganda nti Ssaabasajja Kabaka yaweza emyaka 65 egy’obukulu era twebaza nnyo Katonda olw’okumukuuma. Abantu ba Kabaka mwenna tubeebaza olw’okumulabirira.
Nga bwennabategeeza mu mwezi gwa Mugulansigo nti emikolo gy’Obwakabaka gyonna gyayimirizibwa, emikolo emikulu egy’okukuza amazaalibwa g’Omutanda egyali gitegekeddwa mu Lutikko e Lubaga nagyo tegyaliyo naye Beene yafuna obubaka bw’amazaalibwa ge bwe natuusa ku Buganda bwonna nga mpita ku mikutu gy’amawulire egy’enjawulo. Neebaza n’abantu ssekinnoomu abaweereza Ssaabasajja obubaka bw’amazaalibwa nga bayita ku mikutu gi mukwanira wala, Terefayina, Leediyo ez’enjawulo ne mu mpapula z’amawulire.
b) Ejjinja ery’omuwendo erigabibwa Kabaka
Ssaabasajja Kabaka oluusi abaako abantu ab’enkizo n’abasiima olw’ensonga ez’enjawulo. N’omwaka guno Ssaabasajja yasiima abantu bano:
i. Hon. Paul Kawanga Ssemwogerere
Yasiimibwa olw’okubeera munnabyabufuzi era omukulembeze omukuukuutivu atasuulanga buntubulamu. Y’omu ku balwanirira ameefuga ga Uganda era ye yali Ssentebe owoku ntikko ow’enteekateeka z’okutuuza Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11 ku Nnamulondo e Naggalabi mu mwaka gwa 1993.
ii. Sheikh Hussein Rajab Kakooza
Yasiimibwa olw’obukulembeze bwe mu busiraamu obwalafuubana ennyo okugatta abagoberezi ate ng’era yafuba nnyo okulaba nti ab’enzikiriza endala n’abasiraamu batambulira wamu.
iii. Rev. Canon Samuel Kasujja
Canon Kasujja ye mwawule eyabatiza Ssaabasajja e Gomba. Afuddeyo nnyo ku nsonga ez’omwoyo ezikwata ku Ssaabasajja n’Olulyo Olulangira. Obuweereza bwe bulabikiddemu nnyo ebikolwa ebiraga okwagala abantu n’okunyweza Nnamulondo.
iv. Omw. John Jones Yaakuze
Ono munnamawulire omwesimbu eyanywerera ebbanga lyonna ku nsonga za Buganda era eyakisigaza ku mutima gwe nti Obwakabaka weebuli wadde ng’amateeka gaali gabuweze era yakola obutaweera okulaba ng’ekitiibwa kya Namulondo kiddawo.
v. Professor Josephine Nambooze Kiggundu
Prof. Nambooze ye mukyala omusawo ali ku ddaala erya Doctor eyasooka mu Uganda ne mu bugwanjuba bwa Africa. Asiimiddwa olw’okukola obulungi omulimu gwe ogw’obusawo n’amaanyi ge gonna, amagezi ge gonna n’okwagala kwe kwonna.
b) Emisinde gya Kabaka Mubunabyalo
Omutanda yali asuubirwa okuwuubira abaddusi nga 05/04/2020 ekitaasoboka. Obwakabaka bulina enteekateeka ez’omuggundu ezijja okubategeezebwa ng’embeera y’omuggalo ne tonsemberera eyaleetebwawo ekirwadde kya Covid 19 ng’eyimiriziddwa mu Uganda. Nsaba abantu bonna abaagula emijoozi bagikuume butiribiri nga balindirira ekinaasabuukululwa amangu ddala ng’embeera ezze mu nteeko.
3. WOFIISI YA KATIKKIRO
Abantu ba Ssaabasajja mwenna nina essanyu okubategeeza nti enkya ku Lwokubiri ng’ennaku z’omwezi 12/05/2020, nja kuweza emyaka 7 nga mpeereza Ssaabasajja Kabaka n’Obuganda nga Katikkiro.
Nneebaza nnyo mukama wange Ssaabasajja Kabaka olw’okusiima n’ankwasa obuvunaanyizibwa bw’okumulamulirako Obuganda!
Abakulembeze mu Bwakabaka ku mitendera egy’enjawulo wamu n’abantu ba Ssaabasajja Kabaka mwenna mu Buganda n’ebweru tubeebaza olw’obuwagizi bwe mutuwadde Obutusobozesezza okubaako bye tutuukako.
4. EMBEERA NGA BWEYIMIRIDDE MU BWAKABAKA BWA BUGANDA (STATE OF BUGANDA KINGDOM)
Okuva omuggalo lwe gwatandika, Obwakabaka bufiiriddwa abantu bangi ng’abamu ku bo be bano:
- Omutaka Kasujja Hajji Mohamood Minge Kibirige, Omukulu w’Ekika ky’e Ngeye. Ono yasikirwa muzzukulu we Sheba Kakande ow’emyaka 32, era ye Kasujja kyesimba VIII.
- Oweek. Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo, Ssekiboobo eyawummula
- Dr. Edward Ddumba – eyali akulira eddwaliro ly’e Nsambya.
- Omuky. Solome Nalukwago, Nyina w’Omuk. John Fred Kiyimba Freeman
- Omuky. Maria Nalunga Walusimbi, mukyala w’Oweek. Fr. Walusimbi (Kweba eyawummula)
Gutusinze nnyo Ayi Ssaabasajja! Abooluganda n’emikwano gy’abagenzi abo Katonda abagumye ate n’emyoyo gy’abaafa agiwummuze Mirembe.
EMIRIMU EGIKOLEDDWA MU GAVUMENTI YA BEENE
Gavumenti ya Buganda erina Minisitule 09 nga buli minisitule erina obuvunaanyizibwa obwetongodde bwerina okutuukiriza.
(i) Wofiisi y’Omumyuka Asooka owa Katikkiro Avunaanyizibwa ku nzirukanya y’Emirimu, Tekinologiya n’Obuyiiya
Oweek. Alhaj Assoc. Prof. Twaha Kaawaase (PhD) y’atuula mu wofiisi eno.
Ebikoleddwa eby’Enkizo
Okukwasizaako Katikkiro ku mirimu gye nga bwekiba kyetaagisizza. Okugeza y’akola omulimu gw’okulabirira emirimu egikolebwa Akakiiko Olulondoozi mu Bwakabaka (Audit & Risk Committee) ku lwa Katikkiro.
Okulondoola enteekateeka Nnamutaayiika okutambulizibwa emirimu gy’Obwakabaka ey’emyaka 5 n’okukakasa nti essibwa mu nkola.
Okulondoola enzirukanya y’emirimu mu Bwakabaka wonna ng’otwaliddemu n’ebitongole wamu n’amakampuni n’okukakasa nti biddukanyizibwa mu mateeka.
- Omulimu g’okugulira Baminsita mmotoka ezibasobozesa okutuusa obuweereza ku bantu ba Kabaka yonna gyebali gwakolebwako mu nteekateeka eya “Nze Nanyini” (drive to own) ng’ensimbi sisasulwa mu nkola eya kibanja mpola. Buli mwezi baminisita balina omutemwa ogusalibwa ku nsako yaabwe okutuuka ensimbi ezaagula emmotoka lwe ziriggwayo. Ago ge mazima muve kwabo ababawuddiisa nti emmotoka zaatuweebwa Gavumenti ya Uganda!
- Twebaza nnyo Eggwanika lya Buganda olw’okutetenkana ne bafuna ensimbi ezaasobozesa baminisita okufuna ebidduka ebyo.
Okujjuza ebifo eby’abaweereza byonna abakola emirimu egy’enjawulo kikoleddwa bulungi era emirimu mu Minisitule gitambula kinnawadda.
Okulaba ng’entambuza y’emirimu etuukana n’omulembe, era n’omutindo ogwa sayansi ne tekinologiiya. Era kati mu Bulange wonna tulina omutimbagano (internet). Omutimbagano gutuyambye okutambuza emirimu mu kiseera kino ekya Ssenyiga Kolona.
ii) Omumyuka wa Katikkiro Owookubiri era Omuwanika wa Buganda.
Oweek. Robert Waggwa Nsibirwa, ye Mumyuka wa Katikkiro Owookubiri era Omuwanika wa Buganda. Avunaanyizibwa ku by’ensimbi mu Bwakabaka wonna, okuteekateeka, n’okukulaakulanya ebyenfuna. Minisitule esobodde okukola bino wammanga:
A. BICUL
Ekitongole kino kikola ku bintu ebikulu bisatu:
i) Okusiga Ensimbi: okunoonya n’okwekebejja bamusigansimbi; okutunula mu birowoozo by’obusizi bw’ensimbi bye tuba tufunye.
Ekyokulabirako, ennyumba ezizimbiddwa e Kigo mu mukago gw’Obwakabaka ne “Henan Guoji Industry Group Company Ltd” era era abayitayo muziraba. Nkoowoola abantu ba Kabaka abalina obusobozi okuzeegulirako.
ii) Ekitongole Ekisakirizi (Buganda Partnerships Unit).
Ekitongole kino kye kivunaanyizibwa okunoonya n’okusaka bannamikago abettanira emirimu egyekuusa ku nkulaakulana y’abantu mu mbeera eza bulijjo. Obusakirizi n’obuvujjirizi bye mugenda okuwulira mu kitundu ekiddako nga nnyanjula emirimu gya Minisitule ez’enjawulo bwanoonyezebwa era ne bufunibwa ekitongole kyaffe kino ekisakirizi era tubeebaza nnyo.
iii) Ekitongole ky’Ebibalo (Buganda Statistics Unit)
Ekitongole ky’ebibalo kyatandika okukola emirimu gyakyo nga tuyita mu ndagaano eyakolebwa wakati w’Obwakabaka n’ekitongole kya Uganda ekivunaanyizibwa ku bibalo (UBOS – Uganda Bureau of Statistics). Ekigendererwa ekikulu mu kutondawo ekitongole kino kwe kutusobozesa okukola enteekateeka z’Obwakabaka zonna nga twesigama ku bwetaavu obuba bumanyiddwa nga tuyita mu bibalo. Okugeza, bwe tuba tunoonya ensimbi ez’okulwanyisa mukenenya mu ssaza ly’e Ssingo okuva awantu wano oba okuva mu Gavumenti eya wakati, tuzinoonyayo nga tulaga obwetaavu obuliwo bwe tutegeera okusinziira ku bibalo ebiba bitfiniddwa. Era bwe muwulira nti UNAIDS Uganda baatuwadde ssente bweziti, emirundi gyonna baba baagala kukikola nga bakyesigamya ku bibalo ebikunganyiziddwa. Kale ekitongole kino kikulu nnyo.
iv) Ejjalulizo ly’Ebirowoozo (Buganda Incubation Centre)
Abakulembeze mu Bwakabaka bafuna ebirowoozo bingi okuva mu bantu ab’enjawulo ebiba byetaaga okumaamira, okujjamu oba okufunamu ebyo ebisoboka okuteeka mu nkola. Eyo ye nsonga eyateekesaawo ekitongole kino mu BICUL. Bingi ebiteekebwateekebwa mu kiseera kino byendibanjulira nga bigyiddwako engalo.
B. Namulondo Investments Limited
Ekitongole kino kye kirabirira ebizimbe by’Obwakabaka byonna omuli Bulange; Masengere; Butikkiro n’ebirala. NIL y’etambuza pulojekiti zino wammanga:
Okumaliriza ekizimbe ky’Obwakabaka Ndiwulira ekizimbibwa e Makindye era kinaatera okuggwa.
Okuzimba ekizimbe ky’ebyobusuubuzi ku mbuga y’essaza Kyaddondo e Kasangati.
C. MAJESTIC BRANDS LTD
D. K2 TELECOM
Omuwendo gw’abantu abeeyunze ku mukutu guno beeyongedde nnyo nga kati banaatera okuwera akakadde. Nneebaza bannamikago baffe aba Airtel. Nkubiriza n’abo abatannagugendako okugweyunira ate n’abo abaguliko okugusoosowaza mu by’empuliziganya n’okutambulizaako ensimbi.
Kampuni eno eteeseteese enkola ey’ebyobusuubuzi ebya tekinologiya (Fintech) erindiridde okutongozebwa era etandike okukozesebwa mu bitongole naddala ebyo ebiwola abantu ensimbi mu SACCO. Enkola eno ejja kuyamba okukunganya ssente ku bazeewoze nga tebavudde gye babeera.
- Ssaabawolereza ne Minisitule ya Gavumenti ez’Ebitundu
Minisitule eno ekulemberwa Oweek. Christopher Bwanika nga ye Ssaabawolereza wa Buganda ng’Amyukibwa Oweek. Joseph Kawuki ono ng’avunaanyizibwa obutereevu ku Gavumenti ez’Ebitundu, Ensonga za Buganda Ebweru n’Okulambula kwa Kabaka.
Ssaabawolereza ayolesezza obunyiikivu mu nkola y’emirimu era ensonga zonna azikutte mavumbavumba. Wammanga mu bufunze bye bituukiddwako mu Minisitule:
- Okutaasa ettaka ly’Obwakabaka mu bitundu eby’enjawulo ng’ery’e Mawogola. Ssaabawolereza ali mu kaweefube ow’okulwanirira ettaka lino lye baagala okututwalako mu ngeri ey’ekimpatiira! Omusango gwatwalibwa mu Kooti e Ssembabule era ne guwandiisibwa nga Civil suit No.34 of 2020. Ffe ng’Obwakabaka tulina obwesige nti Kkooti ejja kukola omulimu gwayo mu bw’esimbu ate mu budde anti bannamateeka tugamba nti “Justice delayed is justice denied”.
Twebaza nnyo Minisita Omubeezi w’Ebyettaka, Hon. Persis Namuganza, wamu n’abakulembeze mu Gavumenti abakwatibwako olw’okuvaayo obukukuubira okulaba ng’ettaka ly’Obwakabaka terinyagibwa mu biseera bya Ssenyiga Kolona.
Abantu bangi abaagobanyizibwa ku ttaka mu 2019 mu bitundu bya Buganda. Twategeeza ensi ensonga 6 ezirina okutunulwamu okukomya ekibba ttaka.
a). Obunafu bwa poliisi mu kunoonyereza ku nsonga z’ettaka.
b). Obunafu bwa kkooti obulemesa okulamula ensonga z’ettaka mu budde obumpi.
c). Okweyongera kw’obungi bw’abantu so nga ettaka teryeyongedde. Ettaka abalyetaaga beyongedde ne kyongera enkaayana.
d). Okukaddiwa kw’ettaka, kino kitegeeza nti abantu beetaaga ettaka ddene okufuna emmere ebamala ne kivaamu enkaayana.
e). Emivuyo mu woofiis z’ettaka yonna gyeziri. Obuli bw’enguzi busobozesa abantu abakyamu okufuna ebyapa mu ngeri etali ya bwesimbu.
f). Okuyingiza eby’obufuzi mu nsonga z’ettaka. Ba RDC, bannabyabufuzi n’ebitongole ebikuuma eddembe byeyingiza mu nsonga z’ettaka ekyongera okutabangula.
Ettaka lya Mailo si lye livaako obuzibu.
- Wofiisi ya Ssaabawolereza yawandiisibwa mu mateeka nga “Buganda Royal Law Chambers” ng’ekisigadde kye kitongole kya “Uganda Law Council” okujja okutulambula amakakkalabizo olwo Obwakabaka butandike okukola ku nsonga z’amateeka nga kampuni ey’etongodde. Enteekateeka eno ya kuganyulwa abantu ba Ssaabasajja bonna ng’ebitongole ne ba ssekinnoomu abalina obwetaavu mu by’amateeka.
- Minisitule egenze mu maaso n’okukiikirira Obwakabaka, ebitongole by’Obwakabaka ne Ssaabasajja Kabaka mu misango egiwerako mu Kooti ez’enjawulo era nga tuvaayo n’obuwanguzi kwegyo egyakasalibwako. Egikyawozesebwa era nagyo Obwakabaka bukiikirirwa bulungi.
- Ssaabawolereza alambika Minisitule n’ebitongole by’Obwakabaka byonna ku nsonga ezeekuusa ku mateeka omuli n’okutulungamya ku ndagaano ezikolebwa ne bannamikago wamu n’abavujjirizi.
- Ssaabawolereza atutte mu maaso omulimu gw’okuwandiisa Abayima ku ttaka ly’ebika. Nsaba ebika byonna ebikyasigaddeyo biweereza amanya g’abantu abanaaba ku lukiiko lw’abayima mu bika byabwe eri Ssaabawolereza. Ensonga y’okuwandiisa ettaka ly’ebika byonna mu mannya g’abayima y’ejja okutaasa ettaka ly’ebika n’emirembe egirijja girisangewo.
Gavumenti ez’Ebitundu, Ensonga za Buganda Ebweru n’Okulambula kwa Kabaka
Gavumenti ez’Ebitundu
Ettabi lya Minisitule lino lye litwala abaami ba Ssaabasajja Abaamasaza, Abaamagombolola, Abeemiruka n’Abatongole.
Ng’ennaku z’omwezi 01 Musenene 2019, Ssaabasajja Kabaka yasiima n’alonda abaami b’amasaza abaggya. Abaalya obwami be bano:
- Oweek. Agnes Nakibirige Ssempa, Kaggo (Kyaddondo)
Abamyuka:
- Hajji Ahmed Magandaazi
- Mw. Ronald Mpagi
- Oweek. David Nantagya, Mukwenda (Ssingo)
Abamyuka:
- Mw. Noah Kantunsimbi
- Muky. Regina Nasseremba
- Mw. John Vianney Kasumba
- Oweek. Elijah Bogere, Ssekiboobo (Kyaggwe)
Abamyuka:
- Omw. David Matovu Kato
- Omw. Rashid Luswata Kanaakulya
- Oweek. Gabriel Kabonge, Kayima (Mawokota)
Abamyuka:
- Mw. Patrick Ssemalawa
- Mw. Godfrey Pizaroh Mujuzi
- Oweek. Selestino Jackson Musisi, Kitunzi (Gomba)
Abamyuka:
- Mw. Joseph Kasibante
- Mw. Edward Mubiru Musisi
- Oweek. Jude Muleke, Pookino (Buddu)
Abamyuka:
- Muky. Rose Nalubowa
- Mw. Paineto Yiga
- Mwalimu Abdallah Kato
- Oweek. James Ssempigga, Mugerere (Bugerere)
Abamyuka:
- Mw. Bashir Ziraba
- Mw. Patrick Mugerwa
- Oweek. Ronald Mulondo, Kangaawo (Bulemeezi)
Abamyuka:
- Muky. Margret Namagembe Mutyaba
- Mw. Aron Ddamulira Nkonge
- Oweek. Gerald Kyanjo, Kimbugwe (Buluuli)
Abamyuka:
- Dr. Joseph Kirabo
- Mw. Abdallah Ssebuggwawo
- Oweek. Charles Kiberu Kisiriiza, Ssebwana (Busiro)
Abamyuka:
- Mw. Aloysious Ssemmanda
- Mw. Vincent Kayongo
- Oweek. Mark Ggingo Kaberenge II, (Busujju)
Abamyuka:
- Mw. Christopher Nsimbe
- Mw. Godfrey Mutebi
- Oweek. Hajji Sulaiman Magala, Katambala (Butambala)
Abamyuka:
- Hajji Musa Lubega
- Mw. Samuel Ndugga
- Oweek. Lawrence Kayiza, Mbuubi (Buvuma)
Abamyuka:
- Mw. Micheal Wamala Mboowa
- Mw. Richard Ssemanda
- Oweek. Immaculate Nantaayi Kafeero, Luweekula (Buweekula)
Abamyuka:
- Mw. Andrew Ssempijja
- Ssaalongo Elly Mbalirwa Ssekayita
- Oweek. David Luyimbaazi Kiyingi, Lumaama (Kabula)
Abamyuka:
- Mw. Joseph Mutyaba Mukasa
- Oweek. Muhammed Sserwadda, Muteesa (Muwogola)
Abamyuka:
- Muky. Suzan Namukwaya
- Mw. Damiano Kanwagi
- Oweek. Augustine Kasirye, Kweba (Ssese)
Abamyuka:
- Mw. Christopher Byekwaso
- Mw. Edward Ssebatta
- Oweek. Gertrude Ssebuggwawo, Omukwanaganya w’Emirimu gy’e Kooki
Abamyuka:
- Omulangira Nelson Lubambula
- Ssaalongo Eriabu Kiggundu
Njozaayoza nnyo abaami bano abaalondebwa okuweereza abantu ba Ssaabasajja nga basinziira mu masaza ge bakulembera.
Mu ngeri y’emu nneebaza nnyo nyini abaami b’amasaza abaawummula olw’omulimu ogw’ettendo gwe baakola mu bukulembeze bwabwe era mbasaba mwongere okuweereza n’okuwagira abo abaabaddira mu bigere.
- Okutwala mu maaso enteekateeka y’empaka z’amasaza eza buli mwaka n’okutegeka emisomo gy’Abaami b’Amasaza naddala egy’okubangula abaweereza abaggya mu nkola y’emirimu mu Bwakabaka.
- Enteekateeka ya Luwalo Lwaffe ey’okugula satifikeeti etambuzibwa Minisitule eno ng’ekolaganira wamu n’ekitongole kya Majestic Brands. Ensimbi eziva mu nteekateeka eno ziwanirira emirimu mingi egikolebwa mu Bwakabaka.
- Minisita ng’ali wamu n’abakulembeze abalala mu Minisitule ayongedde okulambula amasaza ga Buganda mu kaweefube w’okulondoola n’okulungamya entambuza y’emirimu mu Masaza gonna.
Ensonga za Buganda Ebweru
Oweek. Joseph Kawuki alambudde abantu ba Ssaabasajja ab’ebweru mu masaza 5 agali mu nsi ez’enjawulo. Kino kyongedde empuliziganya wakati w’Obwakabaka n’Abaganda abali ebweru era ejja kutwalibwa mu maaso. Enkola eno etusobozesezza okutuusa enteekateeka z’Obwakabaka ku bantu ba Beene abali ebweru era nabo bawagira emirimu gya Ssaabasajja.
Okulambula kwa Kabaka
Minisitule yeenyigidde bulungi mu nteekateeka za Ssaabasajja Kabaka okulambula abantu be mu bitundu eby’enjawulo mu Buganda. (Kyokka okulambula kukyayimiriziddwa – Kabaka yali agenda Buddu mu Mugulansigo, naye olwa Ssenyiga Kolona, kino tekyasoboka).
iv) Minisitule y’Emirimu gy’Obwakabaka egy’Enkizo
Oweek. David Mpanga y’atwala Minisitule eno ng’avunaanyizibwa ku mirimu emyekusifu naye nga gya nkizo mu Bwakabaka.
Ensonga ya Federo eri ku mwanjo nnyo mu mirimu gya Minisitule eno. Byakola ne by’ateekateeka bingi bye tusuubira okutusobozesa okutuuka ku lyengedde ku nsonga ya Federo.
v) Minisitule y’Olukiiko, Kabineeti Amawulire, n’ebya Bagenyi
Minisita wa Kabaka atwala Minisitule eno ye Oweek. Noah Kiyimba era ye mwogezi w’Obwakabaka. Minisitule erina obuvunaanyizibwa obukulu obw’okukwanaganya emirimu gy’Olukiiko, Kabineeti, n’Amawulire. Ebimu ku bituukiddwako bye bino:
- www.gambuuze.ug.
- ; ate n’amawulire aga Gambuze – agali ku mutimbagano.
- Kampuni ya CBS FM yagunjizzaawo enkola eya E-kirango ekusobozesa okusinziira wona wooli ku ssimu yo n’oweereza ekirango kyo, n’okusasulira era ne kiyisibwa ku mpewo. Enkola eno mugyettanire okubanguyiza okutuusa obubaka ku bantu enkumu abatagya kalimi mu CBS FM.
vi) Minisitule y’Enkulaakulana y’Abantu
Minisitule eno ekulirwa Oweek. Dr. Prosperous Nankindu Kavuma era y’evunaanyizibwa ku by’Obulamu, Ebyenjigiriza, Abakyala, Ekikula ky’Abantu ne Wofiisi ya Maama Nnaabagereka. Minisitule eno y’enkola emirimu egisinga obungi egyekuusa ku kutuusa obuweereza obw’okekulaakulanya mu bantu ba Ssaabasajja era erimu amatabi 5. Egimu ku mirimu egikoleddwa gye gino:
Ebyenjigiriza
Ebyobulamu
- ŋŋamye. Okuteekateeka yinsuwa eno kwakoleddwa mu Ggwanika (BICUL)
- wamu n’ekitongole kya “Uganda Aids Commision” wamu n’ekitongole kya “Uganda Aids Commision” ez’okutuusa enteekateeka z’ebyobulamu ku bantu nga tuyita mu nsiisira z’ebyobulamu, emisomo, okugema n’ebirala ebigwa mu kkowe eryo. Minisitule eno y’evunaanyizibwa okussa mu nkola endagaano eno.
Kinajjukirwa nti Ssaabasajja Kabaka ye munyeenye mu kulwanyisa mukenenya. Aba UNAIDS baasiima nnyo kaweefube gweyakola mu 2019 ow’okulwanyisa mukenenya.
Abakyala n’Ekikula ky’Abantu
- Minisitule eno y’evunaanyizibwa okussa mu nkola endagaano ezo zonna. Omumyuka wa Katikkiro Owookubri n’ekitongole ekisakirizi tubeebaza nnyo olw’okutuyiggira abanywanyi bano. Nnabategeezezza nti ebitongole ebimu bye biteekateeka, ate ebirala n’ebissa mu nkola.
vii) Minisitule y’Ebyettaka, Obulimi, ne Bulungibwansi.
Minisitule evunaanyizibwa ku by’Ettaka, Obulimi, Obulunzi, Obutale, Obwegassi, Obutonde Bwensi ne Bulungibwansi.
Minisitule eno ekulemberwa Oweek. Mariam Mayanja Nkalubo n’amyukibwa Oweek. Hajji Amisi Kakomo avunaanyizibwa obutereevu ku by’Obulimi, Obulunzi, Obutale n’Obwegassi. Ebimu ku bigenda mu maaso mu minisitule eno bye bino wammanga:
Ebyettaka
BULUNGIBWANSI N’OBUTONDE BWENSI
Ebitongole bya Minisitule eno ebiddako bitwalibwa Oweek. Hajji Amisi Kakomo, Minisita Omubeezi ow’Ebyobulimi, Obulunzi, Obutale n’Obwegassi.
BUCADEF
- Enteekateeka ya Mmwanyi Terimba tugitutte mu maaso era mbasaba mu kiseera kino eky’omuggalo mweyambise obudde bw emulina okulabirira obulungi ennyo emisiri gyammwe egy’emmwanyi. Nga bwennabakuutira omwaka oguwedde, bwe muba mulima mwettanira n’okulunda musobole okufuna ebigimusa okuva mu birundibwa ate biriikirize ennimiro zammwe. Kyokka kikulu nnyo abantu okubeera n’emmere ebamala n’olwekyo okulima emmere eriibwa n’okutundibwa kikulu nnyo era temukigayaalirira.
- Bwe tunaava mu Muggalo wajja kubaayo obwetaavu bw’amaanyi obw’emmere (amasomero n’abantu bajja kuba beetaaga nnyo emmere ey’okulya), ebisolo nabyo bijja kuliibwa nnyo. Kale mulime, mulunde. Emisiri girabirirwe bulungi; ate n’ebisolo n’ebinyonyi birabirirwe bulungi.
- BUCADEF yakola endagaano n’ekitongole kya PSFU nga kya kuvujjirira omulimu gw’okusomesa abalimi b’emmwanyi ku ngeri gye basobola okulinyisa omutindo gw’emmwanyi ze balima n’okutunda. Enkolagana y’Obwakabaka ne UCDA ey’okugabira abalimi endokwa nga tuyita mu BUCADEF nayo egenda mu maaso. Twagaba endokwa 1,800,000 mu 2019.
- Obwakabaka bwatongoza enteekateeka y’okulonda abalimisa n’abalundisa mu Gombolola zonna mu Buganda. Abantu abalondebwa mu nkola eno beebo abalina obumanyirivu mu by’obulimi n’obulunzi era nga nabo benyini benyigiramu; ate nga balina omutima ogwagaliza abalala okukulaakulana. Bano bajja kusomesa abantu mu Gombolola gye babeera oba gye bakolera nabo basobole okwongera omutindo ku nnimiro n’amalundiro gaabwe era bafunemu ekiwera. Mu kaweefube wa Mmwanti Terimba, abantu bano bakulu nnyo kubanga tosobola kufuna mu nteekateeka yonna ya kulwanyisa bwavu nga tewekutte bakugu n’abamanyi.
- Enteekateeka y’okubunyisa amazzi amayonjo mu Buganda egenda mu maaso. BUCADEF erina omukago n’ekitongole kya “Wells of Life” gwa myaka 20 nga buli mwaka bazimba enzizi 100. Enteekateeka eno yatandikira mu ssaza masaza 2 Ssingo ne Buweekula. Omwaka oguwedde enzizi 100 zazimbibwa ate omwaka guno enzizi 10 ze zakazimbibwa.
Kampuni y’Obwakabaka ensuubuzi y’emmwanyi “Mmwanyi Terimba Ltd” yaggwa okuwandiisibwa era egenda kutandika okukakkalabya emirimu gyayo.
Kaweefube wa Mmwanyi Terimba alina emitendera ena (4)
a). Okugaba endokwa
b). Okulambula abalimi
c). Okugula emmwanyi
d). Okuzitunda ebweru/okusiika kaawa.
Tusimbula ekigere kimu ku kimu.
Minisitule etandise okussa mu nkola ekiragiro kya Ssaabasajja eky’okuzza obuggya enkola ey’obwegassi. Minisita alambudde ebibiina by’obwegassi 25 mu masaza ag’enjawulo okusobola okumanya embeera gye birimu kimusobozese okukole enteekateeka z’okusitula omutindo gwabyo ate n’okuzimbirako okutandikawo ebipya.
Tuli mu kwetegereza ngeri Obwakabaka gye buyinza okutambula awamu n’ebibiina by’Obwegassi ebikyaliwo nga Masaka Union; Wamala; East Mengo.
viii) Minisitule y’Abavubuka, Ebyemizannyo n’Okwewummuza
Minisita atwala Minisitule eno ye Oweek. Henry Sekabembe Kiberu. Minisitule ekola ku nsonga ezinyumira ennyo abavubuka nga bye by’emizannyo n’okwewummuza ate n’okubakumaakuma.
ABAVUBUKA
EBYEMIZANNYO
ix) Minisitule y’Ebyobuwangwa, Obulambuzi n’Embiri.
Minisitule eno ekulemberwa Oweek. David Kyewalabye Male.
Minisitule evunaanyizibwa ku by’Obuwangwa, Ennono, Amasiro, Embiri n’Ebifo eby’Enkizo, Olulimi Oluganda n’Okunoonyereza. Minisitule esobodde okukola ku bino wammanga:
- Okuddaabiriza Amasiro g’e Kasubi. Minisita tumwebaza nnyo olw’okukola ekisoboka kyonna okulaba ng’omulimu ogukolebwa mu masiro e Kasubi teguyimirira. Wenjogerera kati abakozi bali mu kukola era tebayimirirangako wadde mu kiseera ky’omuggalo. Abakozi baakolerwa enteekateeka ey’okusulira ddala mu masiro nga gavumenti bwe yalagira era omulimu gutambulira ddala bulungi. Nsaba Obuganda bukitegeere bulungi nti Amasiro ssi nyumba era ssi nsiisira nnene, n’olwekyo okugazimba kirimu emitendera egitwala obudde obuwerako. Nneebaza Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro/Omuwanika olw’okunoonya n’okutetenkanya ensimbi enkumu ezeetaagisa okulaba ng’omulimu guno teguyimirira.
- Omulimu guno guwa essuubi era tusuubira nti ku nkomerero ya Muzigo omulyango omunene gujja kuba guwedde. Omulimu gw’okusereka gwatandikiddwako nga ensambya zisibwa ku mmuli era okutekako essubi kusuubirwa okutandika mu Ssebaaseka 2020.
- Enteekateeka Namulanda (Master Plan) ey’Olubiri lw’e Mengo ekolebwako era eneetera okuggwa ng’eruubirira ebintu ebikulu 3 era bye bino:
- Okukuuma ennono, obuwangwa n’ekitiibwa ky’Olubiri. We twogerera, Olubiri teruliimu nyumba ya nnono okugyako Twekobe sso nga kikulu nnyo okuzzaamu ennyumba ezigendera ku nnono n’obuwangwa mu bifo awabeera Olubiri;
- Okunyweza enkola ya bajjajjaffe eyafuulanga Olubiri entabiro y’enkulaakulana. Nazikuno mu Buganda, abantu abaasinganga obukugu, obugunjuzi era abamanyi mu ntambuza y’emirimu nga be bagunjuzi abakulu baasangibwanga mu Lubiri era gye baavanya okutendeka abantu mu mirimu nga: abasawo, okuweesa, okubajja, okukuba eŋŋoma, amazina n’emirimu emirala. Eyo ye nsonga lwaki Ssekabaka Muteesa II yateeka amasomero mu Lubiri lwe era mu Namulanda enteekateeka ezitumbula enkulaakulana, naye nga tezityoboola nnono na buwangwa, mweziri;
- Okulaba nti Olubiri luwa ekifaanayi eky’obulamu bw’Omuganda nga bwe kyabanga edda. Okugeza, nga mulimu ebifo ebiraga bino: ebika bya Baganda, emmere y’Abaganda, emizannyo gy’Abaganda ng’ekigwo, enkuyo, embirigo n’emirala – wamu n’okussaamu amayumba agalaga Omuganda owedda mwe yasulanga.
Ebiruubirirwa ebyo 3 tukakasa nti bijja kukuuma ennono n’ekitiibwa ky’Olubiri nga tebityoboddwa ate bituyambeko okufunayo ensimbi ezeetaagisa okululabirira n’okulukuumira mu kitiibwa kyalwo.
- Bbugwe ku Lubiri lwa Mujaguzo yazimbibwa. Ono yassibwako kukuuma Ngoma Kawulugumo, ate ne Namanyonyi.
- Omulimu ku mbiri olw’e Nkoni ne Bamunaanika gutambulira ddala bulungi eri gunaatera okugyibwako engalo. Twebaza nnyo Omumyuka wa Owookubiri owa Katikkiro ngera ye Muwanika wamu n’Omuwanika wa Nkuluze olw’enteekateeka ezikoleddwa n’okutetenkanya okutusobozesezza okuddaabiriza embiri ezo 2 ate n’okulabirira endala ezaggwa edda okuddaabiriza nga olw’e Banda, Kireka ne Twekobe e Mengo.
- Omulimu gw’okugogola n’okusimba ebimuli ku Nyanja ya Kabaka gukoleddwa. Bingi ebitannakolebwa okusobola okugituusa ku mutindo ogusaanidde naye enteekateeka zikolebwako.
- Enteekateeka z’okussaawo ekkaddiyizo lya Buganda zitandikiddwako era tusuubira omwaka 2021 we gunaggwerako linaaba litongozeddwa.
- Minisitule eno y’erabirira ekitongole kya BHTB era enyingiza y’Obwakabaka eva mu by’obulambuzi ebadde yeeyongeddeko singa si Ssenyiga Kolona. Ekitongole kino kirabirirwa Omuky. Carol Nnaalinya mu kiseera kino ng’aluŋŋamizibwa Bboodi. Tulina essuubi nti bwetunaava mu mbeera gye tulimu kati, emirimu gijja kwogera okulongooka mu kitongole kino.
4. ENSONGA ENDALA EZ’ENKIZO EZIRI MU BUGANDA NE UGANDA
Emirimu egikoleddwa mu Bwakabaka ngibanjulidde naye ninawo ensonga ezitabuusika maaso ze nsaba mmalirize nazo ezimu ku zo nga zikwata ku Buganda ate endala nga za Uganda yonna era ze zino:
a) Ekirwadde kya Ssenyiga Kolona
Ekirwadde kino kyalumba ensi yonna nga ne Uganda tetaliziddwa. Abakwatiddwa obulwadde mu Uganda basukka mu 100 nga ku bano 55 bajjanjabibwa ne bawona era ne basiibulwa. Obwakabaka bwateekawo akakiiko kano wammanga akakwasaganya ensonga z’abakaluubiriziddwa ssenyiga Korona mu Buganda:
- Oweek. Robert Waggwa Nsibirwa, Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro (Ssentebe)
- Oweek. Dr. Prosperous Nankindu Kavuma, Minisita w’Enkulaakulana y’Abantu (Omumyuka wa Ssentebe)
- Oweek. Noah Kiyimba, Minisita w’Olukiiko, Kabineeti n’Amawulire
- Oweek. Joseph Kawuki, Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu n’Ensonga za Buganda Ebweru
- Omuk. Josephine N. Ssemanda, Omuwandiisi ow’Enkalakkalira (ye muwandiisi wa Kakiiko)
- Omuk. John Fred Kiyimba Freeman, Ssentebe wa Twezimbe
- Omuk. Ronald Kawaddwa, Ssenkulu wa Majestic Brands Ltd
- Omuk. D.D. Mukiibi, Omuwandiisi wa Kabaka ow’Ekyama
- Omw. Joseph Mugagga, Avunaanyizibwa ku by’Ensimbi mu Ggwanika lya Buganda
Ssaabasajja Kabaka yawaayo ebintu ebyeyambisibwa mu kulwanyisa Ssenyiga Kolona ebiweza 100M eri akakiiko akateekebwawo Pulezidenti w’Eggwanga. Mu ngeri y’emu Kabaka alabirira abantu be abamuweereza ku mitendera egy’enjawulo era nabo abavujjirira n’ebyokulya nga bwe kiba kisobose. Twebaza nnyo abantu n’ebitongole eby’enjawulo abavuddeyo okukwasizaako Ssaabasajja ku nteekateeka eno. Ssentebe wa Buganda Twezimbe n’aba Twezimbe nabo baakunganyayo obukadde 23, era nazo ne zigulwamu emmere. Ebitongole bya Buganda bibadde biwaayo emmere. Ababaka ba Ssaabasajja Kabaka mu America n’e Canada nammwe obubaka obwa Shs. 5,529,000/= bwe mwaweerezza bwatuuse era tubeebaza nnyo. Tusuubira nti ensimbi ezo Kabaka anaaziguliramu abantu be abasinga okwetaaga okubeerwa.
Obubaka bwange ku nsonga eno buli bwe buti:
- Okusookera ddala nneebaza nnyo Gavumenti, Minisitule y’Ebyobulamu n’abasawo olw’omulimu ogukoleddwa okusobola okutangira obulwadde buno okutirimbula bannayuganda nga bwekiri mu nsi endala.
- Nneebaza abasawo; ab’ebyokwerinda (naye mukozese bukugu – si bukambwe), abagoba b’ebidduka, abakozi ab’engeri ezitali zimu abaasigala ku mirimu nga abakuuma ebifo.
- Nziramu okukkaatiriza obubaka bwa Beene eri abantu bonna obutukubiriza okukuuma obuyonjo mu maka gaffe ne yonna gye tubeera mu kiseera kino ekya ssenyiga Korona ate empisa ez’obuyonjo ze tuyitamu okulwanyisa ssenyiga Korona – ng’okunaaba mu ngalo buli kiseera tuzitwale mu maaso nga Korona tumaze okumumegga.
- Ssaabasajja era yatulagira okwewala obusambattuko mu maka olw’obudde obungi abantu bwe bamala nga bali bonna mu maka gaabwe ekitabaddeewo. Tufube nnyo okusonyiwagana n’okuguminkirizagana kitusobozese okubeera awamu mu mirembe.
- Nkubiriza abantu ba Ssaabasajja mwenna okugoberera ebiragiro bya Gavumenti ebyassibwawo awatali kubigattikamu bya bufuzi tusobole okuvvuunuka enjega eno nga ffenna tuli balamu. Okulwanyisa Ssenyiga Kolona tekyetaagisa langi za bibiina byabufuzi.
- Obulwadde bwa Ssenyiga Kolona butiisa naye ate tetusaanye kuggwamu ssuubi. Tusigale nga tukola emirimu egisoboka, tulime nnyo emmere kubanga buli lunaku abantu balya, era tukole enteekateeka enezza obuggya emirimu gyaffe ng’omuggalo gugyiddwawo ate gitojjere buto. Tuyambagane era buli omu afeeyo nnyo okumanya embeera muliraanwa we gy’alimu. Alina ebingi waako atalina. Kino kye tuyitamu kya kiseera era embeera ejja kudda mu nteeko. Bannanyini bizimbe tusaba bawuliziganye n’abapangisa baabwe mu buntubulamu. Abapangisa tebatunda; kyokka ebyamaguzi biterekeddwa mu mayu ga bannanyini bizimbe. Ate bannanyini bizimbe balina amabanja ga bbanka. Awonno mwogerezeganye bulungi.
- Abaweereza b’Obwakabaka
Amakampuni n’ebitongole eby’Obwakabaka n’ebirala mu Buganda ne Uganda okutwalira awamu biri mu kusoomoozebwa ku nkwata y’ensonga z’abakozi mu kiseera kino ekya Ssenyiga Kolona. Nkubiriza abakozesa okufuba ennyo okusalawo ebiwa abakozi essuubi. Kino kye kiseera buli mukozi lwe yeetaaga okufuna okugumizibwa okuva eri omukozesa. Waliwo ebiyinza okusalibwawo nga tebyewalika naye abakozi tubazzeemu bulijjo amaanyi baleme kuterebuka.
Bulijjo wewale wolokoso ku Ssenyiga Kolona. Ffuna obubaka obutuufu okuva ku Minisitule y’Ebyobulamu, World Health Organisation ne JohnsHopkins University. Wuliriza abakulembeze bye batugamba. Teweetaaga kumala lunaku lulamba ng’osoma ebifa ku ebifa ku Ssenyiga Kolona. Ebisinga ssamwassamwa.
b) Enkozesa y’Emikutu gi Mukwanirawala
Emikutu gino mirungi nnyo era gyanguya empuliziganya. Kya kusaalirwa kunene nti abantu abamu befunyiridde okuvumaganya emikutu gino nga bayisaako emboozi ez’obulimba ezigenderera okutyoboola n’okwonoona amannya g’abantu. Njagala okugumya abagoberera emikutu gino nti ng’ogyeko emikutu egiriko abagiddukanya abamanyiddwa, egyo egiteekebwako ebintu mu ngeri eya mankwetu giba giruubirira kubawuddiisa. Obwakabaka bweteefuteefu okwanukula oyo yenna alina ensonga gy’ayagala okutangaazibwamu mu bw’esimbu naye tetujja kumalira budde ku batitiizi aboogera nga tebatweyolese. Naye abanaatweyoleka abo naffe tujja kubaŋŋanga!
Okugeza olupapula lw’amawulire olwa Monitor lwafulumya emboozi eyakolebwa James Kabengwa ng’ekonjera Obwakabaka okugya 250000$ mu Embassy y’Abamerika ne tuzikuluppya. Kuno kwali kuwuddiisa bantu kwenyini kubanga ensimbi entuufu ezaatuweebwa zaali 5000$ nga za kukola ekipande ekyogera ku masiro g’e Kasubi. Tetwazikozesa mu budde obugere kubanga amaanyi gaffe gaali ku bbugwe w’e Kasubi, ate ne Muzibu Azaala Mpanga. Ebbanga eggere bwe lyaggwawo ne tuzizzaayo.
Ekitebe kya America tubeebaza olw’okuvaayo nabo ne batangaaza ensi ku nsonga eno.
James Kabengwa tumaze ebbanga nga tumulabula obutawandiika ku Bwakabaka bintu bya kalebule era naffe tetujja kutunula butunuzi, tujja kumufunira ekibonerezo ekimugwanira. Bo bannaffe aba Monitor twabasaba beetonde oba tubatwale mu Kkooti ne beetondera Obuganda.
Amagezi g’empa abavubuka n’abantu bonna abagoberera emikutu gino gaagano:
Tugyeyambise nga bwe njogedde waggulu kubanga gwe mulembe oguliwo era girimu emiganyulo mingi.
Tuyigireko ebituyamba okutuzimba mu bintu ebyomugaso. Bwosanga obubaka obuteereddwayo omuntu ow’obuvunaanyizibwa nga oba Ssaabayigisa (Professor), omuntu omutendeke mu by’obulamu, n’abalala olwo osaana okuyaayaana okumanya kyagamba ate n’okukigoberera naye obubaka bwe buva ew’omuntu ataliimu nsa, okugeza nga ka tugambe: omufere ow’ebbaluwa, omutamiivu waddanga, omunywi w’enjaga oba omuntu yenna atalina ky’akola kimanyiddwa wadde okuba n’omudaala gw’amenvu – mbasaba byaba awandiise musiimuule bisiimuule mu ssimu zammwe ate ne bwemuba mubisomye temubigenderangako.
Ate ggwe ali ku mutimbagano wejjiremu. Bwe bakugamba nti Masengere yasingibwa mu bbanka, akuweerezza ebyo mubuuze bbanka ki gye yasingibwa; mubuuze ebifa ku kyapa; oba mubuuze oba yagenzeeko mu woofiisi y’ebyettaka n’asanga ng’ekyapa kiriko envumbo.
Abatujolonga ba mirundi ena:
a). Waliwo abagamba nti lwaki e Mengo teriiyo mivuyo. Abo batukonjera tulabike nga abalina emivuyo.
b). Entambuza y’emirimu ennungamu gye twaleeta elemesezza bangi okubba. Abaafunanga mu bubbi nabo batusibako ebikyamu.
c). Abatamanyi bigenda mu maaso balemwa okutaputa embeera.
d). Abakwatibwa ensaalwa olw’ebyo ebituukiddwako. Bano beebasinga okubeera bakajiiko nnatabula.
c) Ettemu mu bannabyabufuzi n’abantu aba bulijjo
Wadde ng’ebirowoozo byonna kati bannayuganda tubitunuulizza ekirwadde kya Covid 19, siyinza kubuusa maaso ebikolwa eby’obutemu ebikolebwa ku bannabyabufuzi naddala abavuganya gavumenti omuli: Okutomera omuwala wa “people power” (Rita Nabukenya emyezi 2 egiyise, Kyeyune Daniel yakubwa amasasi e Nansana, okukuba n’okutulugunya Omubaka Zaake Butebi. Ebikolwa ebyo bya bulabe, byeraliikiriza era biteeka obulamu bwa bannayuganda ku bunkenke kumpi n’okusinga ekirwadde kya Ssenyiga Kolona.
Minisita w’Ensonga ez’omunda mu Gavumenti jjuuzi yategeezezza Palamenti nti Omubaka Zaake Butebi yeetuusaako ebisago byapooca nabyo mu kiseera kino. Kino nno kizibu okumatiza omuntu yenna, ne bw’aba mwana muto ayonka.
Omubaka Zaake yatugamba mbu ekimu ku kyamukubya emiggo baamulanga kubeera Muganda! Nsaba gavumenti enoonyereze oba ng’ebikolwa bino ebikolebwa abakuuma ddembe byekuusa ku busosoze mu mawanga.
Ffe ng’Obwakabaka tetuyinza butavaayo kwogera ku nsonga nkulu bweti kubanga omulimu gw’okukuuma abantu n’ebyabwe gwa Gavumenti awatali kusosola mu mawanga, eddiini, endowooza z’ebyobufuzi, ekikula ky’abantu, oba embeera endala yonna. Namirembe; Kyeyune; Zzaake n’abalala Abaganda abattiddwa ennaku zino.
Nsaba gavumenti eveeyo bukukuubira eteekewo ekibonerezo ekikakali eri oyo yenna anatuusa obulabe nga buno ku bannabyabufuzi. Eyo ye ngeri yokka gye tuyinza okulinnya omuze guno ogukula buli lukya ku nfeete! Ate n’ebyayogeddwa nti yakubiddwa lwakuba Muganda bisaana okunoonyerezebwako nga ekiwundu tekinnasamba ddagala. Kyokka twalaba ababaka abalala ne baminisita nga bagaba emmere eyo mu nguudo. Bbo nga tebakwatibwanga. Ye omumenyi w’amateeka lwaki akubwa?
d) Ekisiibo ky’Abasiraamu (Swaum)
Baganda baffe ne banyinaffe abasiraamu baatandika ekisiibo nga 24/04/2020. Enteekateeka z’okubasiibulula zaali ziwedde naye Allah n’atatusobozesa. Nkozesa omukisa guno okubaagaliza ekisiibo ekirungi era eky’emirembe ate n’okubasaba musabire nnyo eggwanga lyaffe Buganda, nyaffe Uganda wamu n’ensi yonna mu kisiibo kino Katonda atuvvuunuse enjega ya Ssenyiga Kolona. Nsaba Allah abagemulire empeera zonna.
6. OKUWUMBAWUMBA
Omwaka guno, Obwakabaka mu buweereza bugenda kusigala nga butadde essira ku nsonga zino:
- Okulwanirira Enfuga eya Federo.
- Okutumbula n’okunyweza empeereza y’amakampuni n’ebitongole ebyatandikibwawo.
- Okutumbula embeera z’abantu nga tuyita mu nteekateeka z’okukulaakulanya ebyenfuna bwa buli ssekinnoomu.
Ebisingawo ku nteekateeka zaffe ez’omwaka 2020/2021 bijja kubanjulirwa Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika ng’asoma embalirira y’Omwaka ogwo mu bbanga ttono okuva kati.
Nsaba abantu ba Ssaabasajja Kabaka bonna abali mu bukulembeze ku mitendera egy’enjawulo okuwagira enteekateeka z’Obwakabaka n’okukola obutaweera okutumbula ekitiibwa kya Buganda.
Neebaza mwenna abampulirizza nga muyita ku mikutu egy’enjawulo. Bannamawulire mbeebazaamu akensusso kubanga mu buli mbeera muba ba nkizo nnyo mu kusasaanya amawulire. Bannaffe mwebale nnyo mwebalire ddala.
Nneebaza abantu bonna abankwatiddeko ku buvunaanyizibwa bwange nga Katikkiro emyaka 7 gyenaakaweerereza omuli abamyuka ba Katikkiro, ba Sipiika, baminisita, ba Katikkiro ne baminisita abaawummula, abakulu b’ebitongole n’abaweereza bonna mu Bwakabaka.
Nneebaza abaami ba Kabaka ku mitendera gyonna, Abataka Abakulu b’Obusolya, Abalangira n’Abambejja, abakulembeze b’eddiini, ab’ebyobufuzi, n’bebyobuwangwa ku mitendera gyonna olw’obuwabuzi n’obuwagizi bwe mutuwadde.
Nawandiika ekitabo “Ettoffaali” ekirombojja bye twayitamu mu kaweefube ono eyavaamu ebibala ebirabwako era bye twenyumirizaamu nga BBS eno kwetuli kati. Ekitabo kino mbadde wa kukibanjulira olwaleero naye kampuni gye kikubirwa mu kyapa eri ku muggalo kale bwentyo sisobodde kukibanjulira. Naye omuggalo bwe gunaggwa, nsuubira munaakifuna ne mwejjukanya ku ngeri Obuganda gye bwakyusibwamu Ettoffaali.
Mpandiise emboozi y’obwa Katikkiro ey’emyaka 7 okubanyumiza ebibaddewo ate n’okuboolekeza ebijja mu maaso. Olupapula lwa Bukedde ne New Vision ze zigenda okufulumya emboozi eyo olunaku lwenkya. Mbasaba mugule amawulire ago era mugasome.
Mmaliriza nga neebaza nnyo Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olw’okutulambika n’okutuwagira mu nteekateeka z’okuzza Buganda ku Ntikko.
Mbakakasa nti embeera mu Bwakabaka nnungi ddala. Wadde ng’ebisoomooza weebiri, tutambula tugenda mu maaso era mbakakasa nti Omutanda anywedde gguluggulu ku Namulondo. Ayi Katonda kuuma Kabaka waffe!