
Bya Shafik Miiro
Kakeeka – Mmengo
Minisita w’Amawulire n’Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka, Israel Kazibwe Kitooke akubirizza abayizi okukozesa obwagazi bwe bwalina mw’ebyo bye basoma ng’empagi mu kwekulaakulanya n’okukyusa obulamu bwabwe.
Okulambika kuno, Owek. Kazibwe, akukoledde ku ttendekero lya Buganda Royal Institute, ku mukolo abayizi abasoma eby’emisono n’okutunga kweboolesereza ebimu kw’ebyo bye bakuguseemu mu kiseera kye bamaze mu ttendekero lino.
Owek. Kazibwe ategeezezza nti essomo ly’ebyemisono n’okutunga lye limu ku masomo agawa abavubuka emikisa okutandikawo emirimu egiwerako ate nga givaamu ensimbi ezitegeerekeka.
Ono agasseeko nti eby’emisono oli bw’awaayo obudde n’ateekamu obuyiiya mu kuzuula emisono emiggya egitabaddewo ku katale asobolera ddala okwenogera ensimbi. Kuno kwasinzidde n’akuutira abayizi abakuguse mu by’okutunga okubeera abayiiya ddala baganyulwe nnyo mw’ebyo bye bayize.

Owek. Kitooke era alabudde abayizi bano obutayanguyira bufumbo nga baakamala okusoma, wabula basooke baweeyo obudde okukola ebyo bye basomye, basobole okugenda mu bufumbo nga beteeseteese.
Enteekateeka eno ey’abayizi abasoma eby’emisono n’okutunga okwolesa bye bakuguseemu, ebeerawo buli mwaka ng’abayizi abamalako omwaka ogw’okubiri era abateekareeka okutikkirwa be bagyetabamu okulaga bye babeera bayize mu myaka ebiri (2).









