Bya Ssemakula John
Kyambogo
Ssenkaggale w’ekibiina kya Democratic Party (DP), Nobert Mao, ategeezezza ng’ekibiina kye bwe kyaluddewo okuwaayo emikono olw’okusuubira nti oludda oluvuganya lubadde lugenda kwegatta basimbewo omuntu omu okuvuganya Pulezidenti Museveni.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/11/123669819_3760913583942126_8838784456778537011_n-750x375-2.jpg)
Bino Mao abyogeredde Kyambogo nga yaakamala okukakasibwa okuvuganya ku bwapulezidenti bw’eggwanga mu kalulu ka bonna aka 2021.
Mao agambye nti ekibiina kya DP kitambulira ku mateeka era nga baalina okutuuza ttabamiruka w’ekibiina okusooka, okulonda alina okukwatira ekibiina bbendera nga babadde tebasobola kutandika kukung’aanya mikono nga Ttabamiruka tannabaawo.
“Ekibiina kyaffe kikkiririza mu nfuga ey’amateeka so si kubeera na Ssemateeka kyokka kuba ne bannakyemalira babeera ne ssemateeka. Tuluubirira nfuga ey’amateeka, bwetutyo bwe tutambuza DP. Abantu abamu babadde babuuza lwaki DP eruddeyo nebatukuba ne mu katooni nga bagamba tutambula kasoobo nga nfudu,naye njagala okubagamba nti kyaddaaki enfudu etuuse.” Mao bw’annyonnyodde.
Okusinziira ku tteeka erirambika okulondebwa kwa Pulezidenti, omuntu yenna eyeesimbawo alina okufuna emikono egimusemba gya balonzi 100 okuva mu disitulikiti 98 mu ggwanga lyonna.
Bannakibiina kya DP emikono baagireese ku Lwamukaaga ng’akakiiko kamaze okufulumya olukalala lw’abo abagenda okukakasibwa.
Mao agambye nti babadde tebayinza kuteeka ssemateeka ku bbali kusemba muntu awamu n’okutandika okunoonya emikono egisemba omuntu waabwe nga abalala bwe bakoze.
Ono annyonnyodde nti balina essuubi nti oludda oluvuganya lujja kuvaayo n’omuntu omu kubanga kino kye kibadde ekirooto kya Bannayuganda okuviira ddala mu mwaka gwa 2018, era nga buli omu abadde alinze.
Mao agambye nti zino ensonga ebiri ze zibaleese ekikeerezi naye n’awera nga bwe beetegese kubanga emyaka 56, DP gy’emaze gyoleka buwanguzi.
Agambye nti essira agenda kuliteeka ku kyakulaba ng’eggwanga lisobola okukyusa obuyinza mu mirembe wamu ne bannansi okusonyiwagana basobole okubeera obumu.