
Bya Musasi waffe
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti okuzza Buganda ku ntikko kwa buly’omu sso ssi bantu balondemu.

Okwogera bino kiddiridde essaza ly’e Kabula omulundi ogusoose bukyanga nkola ya luwalo etandika okutikkula amagombolola eg’enjawulo mu ssaza nga tegazze nga kitole.
“Bwemujja ng’essaza kibanafuya kubanga kaweefube w’okuzza Buganda ku ntikko alina okwetabwamu abantu bonna mu bitundu byabwe gyebali. Buganda tesobola kudda ku ntikko nga yeesigamye ku Banna Kampala oba Banna Mityana oba Banna Masaka bokka,” Mayiga bwagambye.
Agasseeko nti ekinaaleetera Buganda enkulaakulana ssi ke kakadde akamu akaweereddwayo omuntu omu wabula omutwalo ogumu oguweereddwayo akakadde k’abantu.
“Amanyi gaffe gali mu bantu era njagala amagombolola 174 agakola Obwakabaka gonna g’enyigire mu nteekateeka eziba zanjuddwa gavumenti ya Kabaka. Buganda ssi ya b’eMmengo, Buganda ssi yabakadde, Buganda ss iya baggagga oba abaavu. Buganda yaffe ffena era singa tuneenyigira mu nsonga ezibeerawo tujja kuwangula,” Mayiga bwagambye.
Kululwe Kaggo, Agnes Nakibirige Ssempa, omwami w’essaza ly’e Kyaddondo yeebazizza Katikkiro olw’emirimu gyakola okukulaakulanya Buganda.
Asiimye nnyo abakyala b’e Kyaddondo olw’okugula satifikeeti wamu n’okuwaayo Oluwalo.
Ate ye minisita avunanyizibwa ku gavumenti z’ebitundu Oweek. Joesph Kawuki yeebazizza nnyo abo bonna abalina kyebakoze mu nkulaakulana ya Buganda.
Asabye abakyala okusomesa abaana baabwe abalenzi kubanga bangi kati balekeddwa emabega.
“Ffe nga ababeera obutaleevu n’abazadde, omulimu guno ogusinga obunene guli ku ba maama. Omwana omulenzi bwasobya omuzadde omukyala yeegayirira mwana mulenzi baleme kumubonereza. Omuwala bwasobya omuzadde bwajja akangavvulwa n’okusinga mmwe abasomesa bwemulowooza,” Kawuki bwagambye.
Mu Luwalo lw’omulundi guno lubadde lwa Ssaza ly’e Kyaddondo ne Kabula.
Amagombolola asatu okuva e Kabula gakiise embuga. Muno mubaddemu, Ssaabawaali Kaliiro- abaleese Oluwalo lwa 800,000/= 2. Mumyuka Kasagama, Luwalo lwa 439,000, satifikeeti za 200,000, enkoko 1 awamu n’enkota z’amatooke 4 Ssaabagabo Kinuuka- baleese oluwalo 620,000/=
Ate bbo abakyala b’e Kyaddondo baleese Oluwalo lwa 15,145,000/=
Awamu bonna baleese oluwalo lwa bukadde obusobye mu 17m.









