
Bya Ssemakula John
Kampala
Ababaka aba Palamenti okuli owa Makindye West Allan Ssewanyana nowa Kawempe South, Muhammad Ssegiriinya boogeddeko eri bannamawulire omulundi ogusookedde ddala bukya bayimbulwa ku kakalu ka kkooti okuva mu kkomera gyebaali bamaze omwaka ogusoba mu gumu .
Ababiri bano baali baggalirwa okumala omwaka gumu n’emyezi ettaano ku misango gy’okubeera emabega w’ettemu ly’ebijambiya eryali mukitundu kye Masaka mu Buddu.
Bwebabadde boogerako eri bannamawulire abakungaanidde ku kitebe ky’ ekibiina kyabwe e Kamwokya mu Kampala ku Lwokusatu bawakanyiza ebigambibwa nti waaliwo okuteesa wakati w’oludda oluvuganya ne gavumenti okusobola okubayimbula.
Ssegiriinya ne Ssewanyana bannyonnyodde nti okubayimbula kwali mu mateeka era tebalina musango gwonna gwebaali bazza nga n’olwekyo tewaliwo nsonga yonna yali yetaaga kuteesebwako.
Bano bannyonnyola nti nokutuusa essaawa ya leero kkooti ekyalemeddwa okuweebwa obujulizi obumala okubasibako emisango gino.
“Tewali nteeseganya zonna. Etteeka n’okubanja gavumenti etuyimbule okuva mu bantu ab’enjawulo omuli bannamawulire, ababaka, bannaddiini awamu n’abakulembeze b’ekibiina kyaffe byebyakola omulimu,” Ssewanyana ne Ssegiriinya bwe bategeezezza.
Ssewanyana agasseeko nti balina bannamateeka abakugu abaali bakulembeddwamu Loodimmeeya Erias Lukwago ng’ono amanyiddwa okukola nga talina makoona gonna.
Bano bagamba nti ebigambo by’okubayimbula nga bamaze kuteesa bitambuzibwa abo abagezaako okuvumaganya ekibiina ki NUP mwebava okugezaako okulaga nti kikolagana ne gavumenti ekintu ekitali kituufu.
Ababaka bano bagumizza bannayuganda okugenda mu maaso nga balwanirira embeera yonna etali ya bwenkanya eri mu ggwanga nebagattako nti wadde basibiddwa nebatulugunyizibwa naye tebajja kupondooka.
Kinajjukirwa nti wadde bino biri bityo naye ababaka bano bakyawerenemba n’emisango gino mu kkooti y’ensi yonna ewozesa bakalintalo mu Kampala awamu nemu kkooti e Masaka.









