Bya Gladys Namyalo
Kampala
Ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC) kyemulugunyizza ku ngeri akakiiko k’ebyokulonda gye kakuttemu ensonga y’okusunsula abeesimbyewo ku bifo bya gavumenti ez’ebitundu naddala ekya bakkansala.

Okusinziira ku FDC abeesimbyewo babadde bangi nnyo era ng’abasinga babadde basula mu bifo awasunsulibwa mu bitundu nga; Mukono, Wakiso, Kampala n’ebirala.
Okwemulugunya kuno kukoleddwa omwogezi w’ekibiina kino Ibrahim Ssemujju Nganda bw’abadde ayogerako eri bannamawulire leero ku kitebe ky’ekibiina e Najjanankumbi mu Kampala.
“Okusunsulamu kuno kukwatiddwa bubi mu bitundu by’ebibuga; omuwendo gwa bakkansala gye guli omunene. Abeesimbyewo babadde basula mu bifo bino e Wakiso, Mukono n’ewalala. Mu bifo ebimu babadde balina okugulirira abakuumi ku ggeeti babakkirize okuyingira munda we basunsulira.” Ssemujju Nganda bw’agambye.
Okusunsulamu abeesimbyewo bano kugenda kukomekerezebwa ku Lwokuna lwa wiiki eno nga 1/10/2020.
Ssemujju yagambye nti e Wakiso enkola y’okukola ku oyo asoose okutuuka, baagivuddeko nebatandika okuwa ennaku buli kitundu kwe balina okukikolerako era nga n’okutuusa kati abantu bangi tebannakolebwako.
Ono alumiriza nti obwedda okusinga bakola ku bannakibiina kya NRM era n’asaba Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda okunoonyereza ku nsonga eno mu bwangu.
Nganda ategeezezza nti okuva lwekiri nti abeesimbyewo bamaze okubasunsula, akakiiko k’ebyokulonda kalina okuvaayo okulambika enkug’aana bwe zigenda okukubibwa awamu n’abeesimbyewo abatalina ssente zigenda ku leediyo ne ttiivi bwe bagenda okunoonyaamu akalulu kano.
Ono era ategeezezza nti wadde akakiiko k’ebyokulonda kaali kakkiriza enkung’aana ez’abantu abatonotono, wabula tekaateekako kkomo ku muwendo gw’abantu.
Ssemujju asinzidde wano ku lw’ekibiina n’akungubagira eyali Mmeeya wa Kampala, Al Hajji Nasser Ntege Sebaggala eyafudde ku lun Lwomukaaga lwa wiiki ewedde.
Mu bubaka obw’enjawulo ekibiina bwe kyafulumizza Sebaggala bamwogeddeko ng’omusajja abadde omumalirivu buli lw’abadde asalawo okubaako ky’akola.
“Okuva omugenzi lwe yeesowolayo mu 1998 okuvuganya ku kifo ky’obwammeeya, yawa abantu bamufunampola n’abantu abatasomangako essuubi ly’amaanyi okwetaba mu by’obufuzi bwa Uganda era ekyo tugenda kukimujjukirirako lubeerera.” Ssemujju bw’agambye.
Ssemujju yagasseeko nti Sebaggala abadde kyakulabirako mu by’obufuzi era ng’abadde talina lusozi lwonna lw’atya kuwalampa, ekintu ekyamufuula eddoboozi lya bannakampala era ng’emirundi mingi abadde abalwanirira.