Bya Shafic Miiro
Bulange – Mmengo
Minisitule y’Abavubuka Emizannyo n’Ebitone etegeezezzza nti eri mu kuteekateeka okunyweza obukulembeze bw’Abavubuka mu Buganda era ng’akalulu k’olukiiko Ttabamiruka olw’Abavubuka bonna kabindabinda era kakubaawo mu nnaku ezitali zaawala.
Enteekateeka eno eyanjuddwa Ssentebe w’Olukiiko oluluŋŋamya ebibiina by’Abavubuka mu Buganda Owek. Dr. Rashid Lukwago bw’abadde asisinkanye olukiiko oluluŋŋamya ebibiina by’Abavubuka mu Buganda, abakulembeze b’Abavubuka mu Bika, ku Lwokubiri e Bulange Mmengo.
Owek. Lukwago annyonnyodde nti wajja kubaawo enkyukakyuka mukulonda olukiiko Ttabamiruka era asabye bonna abeegwanyiza ebifo okweteekateeka obulungi naddala nga boolesa obusobozi okuweereza Maasomoogi.
“Akadde keekano okulaba nga buli muvubuka yonna gyali abeera mu ntabiro y’olukiiko ttaabamiruka olw’Abavubuka mu Buganda (Buganda Youth Council). Mu kino twagala okugatta abavubuka ng’olukiiko olubataba kuliko abantu okuva mu bibiina eby’enjawulo nga Nkobazambogo, Akalibaakendo, Kabaka Mwennyango, Abavubuka mu Bika n’abalala, kino kibayambe okumanya nti obukulembeze bwakugattira wamu” Oweek. Lukwago.
Ono era agamba nti akalulu kengedde, essaawa yonna abavubuka bajja kutegeezebwa olunaku era nti enkyukakyuka ezaakolebwa mu kulonda kuno zigendereddwamu okuwa enkizo buli kibiina okubeera n’omukiise atuusa ensonga ze ku lukiiko olw’okuntikko.
Owek. Lukwago ayongeddeko nti abakulembeze abaanalondebwa bannaabwe bajja kumanya nti singa tebaweereza bulungi bajja kugambibwako, n’okuwabulwa okusobola okwetereeza.
Byonna agamba bijja kwongera okuzimba obumu mu bavubuka, okukolera awamu, okumanya ennono n’obuwangwa n’ebirala.
Abamu ku bakulembeze bagamba nti baali basubwa dda omukisa nga guno, bbo ng’abavubuka mu Bika okukiika ku lukiiko ttabamiruka okusobola okutuusa eddoboozi lyabwe era bano bagamba nti beesunze okwongera okunyikizza obumu nga bakolagana ne bannaabwe okuva mu bibiina ebirala. Beebazizza nnyo Minisita olw’enteekateeka eno era baweze okuweereza Ssaabasajja obutaweera.
Ensisinkano eno yeetabiddwamu Omukulu w’Ekika ky’Enkima, Mugema Charles Mugwanya Nsejjere, Omukwanaganya w’Abavubuka mu Buganda Oweek. Hassan Kiyemba, Omuwandiisi w’Olukiiko oluluŋŋamya ebibiina by’Abavubuka Omw. Lumunye Ronald, n’abakulembeze b’abavubuka okuva mu bika eby’enjawulo