Bya Jesse Lwanga
Mukono
Abeesimbyewo ku bwassentebe bw’eggombolola, bammeeya ba ttawuni kkanso awamu ne bakkansala baabwe e Mukono, beekokkodde omuwendo gw’abalonzi ogubadde omutono wamu n’abalonzi okubakandwa ssente, basobole okubalonda, kye bagambye nti ky’onoonye okulonda kw’omulundi guno.
Wadde okulonda kwatandise mu budde mu bifo ebisinga era nga zaagenze okuwera essaawa ebbiri ng’ebikozesebwa byonna byatuuse dda, naye okulonda kwaluddewo olw’omuwendo gw’abantu abessalira abalagirwa mu mateeka ogw’abantu ekkumi, okulonda okutandika gwaluddewo okuwera.
Abalonzi obwedda bajja mu kimpowooze era okusinga obwedda abalondesa balinda kimu budde baabuke, naye ng’abalina okukuba akalulu tebabalaba.
Abamu ku bavuganya ku kifo ky’obwassentebe bwa Divizoni ya Mukono Central era munnakibiina kya NRM, Muhammed Wasswa Takwana, eky’omuwendo omutono akitadde ku kya kuba nti abantu abali mu kitundu kino ate si balonzi bamwo era nga bwe batuuka okulonda baddayo ewaabwe.
Ono ayongeddeko nti waliwo n’ekizibu ky’abantu ab’ekibiina ekimu abakyalina obusungu ng’abasinga ku bano tebakyalonda olw’ebyava mu kalulu ka bapulezidenti. Agambye nti ate bano bwe basalawo okulonda tebafaayo ku bantu bakozi wabula balonda kimu obubonero bwa bibiina.
Wasswa ategeezezza nti abalonzi basusse okumupeekanga ensimbi mu biseera bya kkampeyini ne ku lunaku lw’okulonda abeesimbyewo, ze batalina. Ono yalondedde ku kifo kya Ggulu A N Z era ng’awera okubbulula ekitundu kino.
E Nakisunga mu Mukono South, ku kifo awalonderwa ekya Kyawambogo, eno abeesimbyewo okuli Ssentebe aliko Mubaraka Ssekikubo owa NRM ne Munna NUP, Suzan Bogere Nsensebuse, kata beegwe mu malaka ng’entabwe eva ku kwagala kulagirira bantu ani gwe balina okulonda. Wano n’omubaka wa Mukono South, Johnson Muyanja Ssennyonga w’alondedde era naye ne yennyamira olw’omuwendo gw’abalonzi ogubadde omutono ddala. Alabudde nti kino kyandivaako okufuna abakulembeze ab’ekibogwe.
Ono agambye nti kikyali kizibu okutegeeza abantu ensonga lwaki ku mulundi guno polling station okuli abalonzi 700, waliwo abalonzi 60. Kyokka kino agamba nti tekisaanye kunenyezebwa gavumenti kuba ekoze ogwayo.
Bo abamu ku basangiddwa nga balonda bagambye nti okuva ku kalulu k’Obwapulezidenti, abantu baggwaamu essuubi nga balowooza nti ne bwe balonda abaabwe be baagala, ate abakulu balangiriramu balala, ne babeera nga bamaze biseera byabwe.