Obwakabaka bwa Buganda buwagidde enteekateeka y’okukuza olunaku lwa international white canes n’obuuma obweyambisibwa abalema okutambula amakumi ataano.
Emiggo gino (white canes) giwereddwayo Obwakabaka nga bukikiriddwa Owekitiibwa David Kyewalabye Male ono nga Minisita w’Obuwangwa, Obulambuzi n’Embiri mu bwa Kabaka era nga emiggo gino gikwasiddwa Ssentebe w’ekibiina kya bamuzibwe ekya Uganda National Association for the Blind (UNAB).