Ssaabasajja Kabaka atongozza mayiro ya Bulungibwansi ku luguudo lwa Katuluba mu gombolola ya Mutuba III Namayumba. Mu ngeri yeemu atongozza ekijjukizo ku mbuga y’egombolola ye Namayumba.
Mu Buganda olunaku lwa Bulungibwansi ne gavumenti ez’ebitundu (Local Government) lukuzibwa buli mwaka nga 8th omwezi ogw’ekumi. Era ku lunaku luno Buganda ejaguza amefuga gaayo era nga ku mulundi guno Ssaabasajja Kabaka yasiima olunaku luno lukwatibwe mu Ssaza lye e Busiro mu Ggombolola y’eMasuliita.