Abantu ba Kabaka nga bakulembeddwamu Minisita wa Kabaka ow’obuwangwa n’ennono, Owek David Kyewalabye Male, wamu ne Meeya wa Lubaga Division, Owek Joyce Nabbosa Ssebugwawo, bakoze bulungibwansi ku nnyanja ya Kabaka mu Ndeeba. Bajigogodde, batemye emyala egitwala amazzi, n’okusaawa omuddo okugyetoloola.
Bakubirizza abantu abalinanyewo okukomya okuyiwa kasasiro mu nnyanja ya Kabaka kubanga kyonoona obutonde bwensi.
Bulungi bwansi y’emu ku ngeri eyitibwaamu okukuuma obulamu wamu n’embera z’abantu nga balamu ate era nga basobola n’okukola nga Ssaabasajja Kabaka bwazze agamba abantu be.
Okukola bulungi bwansi by’ebimu ku bikujjuko ebikulembera okukuza olunaku lwa Bulungibwansi mu Buganda. Olunaku luno nga 08th October Buganda lweyafunirako obwetwaze wabula nga mu Buganda lukuzibwa nga olunaku lwa Bulungibwansi. Olunaku luno lukuzibwa buli nga 08th October olwa buli mwaka era nga omukolo gw’omwaka guno Ssaabasajja Kabaka yasiima agenda kulukwatira mu Ssaza lye e Busiro,