• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Okukuza Ameefuga ga Buganda e Canada

Gambuuze by Gambuuze
October 7, 2025
in Amawulire
0 0
0
Okukuza Ameefuga ga Buganda e Canada
0
SHARES
293
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Gerald Mulindwa

Abantu ba Kabaka e Canada bakuzizza ameefuga ga Buganda. Basabidde Kabaka omutonzi amuwe obulamu obulungi.

Omukolo gutegekeddwa mu kibuga Toronto, gukulembeddwamu ekitambiro ky’emmisa ekiyimbiddwa Rev. Fr. Cyril Balaba okuva mu diocese y’e Mityana, awonze Ssaabasajja Kabaka mu mikono gy’Omutonzi amuwe obulamu obulungi, amagezi, n’obuwangaazi, era obubaka buno abusabise mu zabbuli 72.

Omutambizi Cyril Balaba, yebazizza Omutanda olw’okukumaakuma n’okulondoola abantu be yonna gyebali ng’ayita mu bajtu basiimye okutuusa obubaka bwe eri abantu be.

Katikkiro Charles Peter Mayiga, mu bubaka bwe bwasomedde ku mukutu gwa zoom nga asinziira mu kakkalabizo lye ku Bulange, yebazizza ab’e Canada ensimbi zebawaayo okusimira abantu b’e byalo enzizi z’amazzi ennungi n’abasaba okugenda mu maaso n’omwoyo ogwo.

Ye Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, okulambula kwa Kabaka n’ensonga za Buganda ebweru, Oweek Joseph Kawuki mu bubaka bwe bwayisizza ku mutimbagano, ababuulidde nti embeera y’obulamu bwa Ssaabasajja Kabaka eyongedde okutereera era akola emirimo gye nga agoberera okulambikibwa kw’abasawo.

Abeebazizza enteekateeka y’okusabira Kabaka n’obuganda eya buli mwaka n’agaamba nti okuva obwakabaka lwe bwafuna obwetwaze Abaganda tebajulirira bafuzi b’amatwale, baafuna ekikubagizo kya Kabaka kubanga emirundi mingi Ssaabasajja Kabaka ye ngabo y’abanyigirizibwa era ekikubagizo ky’embeera z’abantu ze bayitamu mu Nsi yabwe.

Annyonnyodde nti Abaganda beenyumiriza nnyo mu bwetwaze buno olw’obukulembeze obulungi obwa Ssekabaka Edward Frederick Walugembe Muteesa II ne Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II.

Abategeezezza nti wakati mu bisomooza obwakabaka, wakyaliwo obumulumulu obuva mu myaka gye 60 obulinga obusikire omuli ebintu Buganda byebanja Gavumenti ebitaddizibwanga okutuusa kati, wabula kino tekiremesezza Buganda kugenda mu maaso era waliwo bingi eby’enkulaakulana ebituukiddwako.

Guno mulundi gwa musanvu nga abantu ba Kabaka e Canada bategeka olunaku lw’okusabira Kabaka n’Obwakabaka buli mwaka.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist