Bya Ssemakula John
Kampala
Eyeesimbyewo ku bwapulezidenti ku kkaadi ya National Resistance Movement (NRM),Yoweri Kaguta Museveni, yategeezezza bannayuganda abo abaagala okukuuma ebiseera byabwe eby’omu maaso okumuwa akalulu mu kisanja kino. Olw’ensonga nti gavumenti ye erina bingi by’ekoledde ekitundu ky’e Luweero n’eggwanga lyonna.
Bino Museveni yabitegeezezza bannayuganda ng’ayogerako gye bali mu kiro ky’eggulo ku Mmande oluvannyuma lw’okutongoza kampeyini ze e Luweero ku Kawumu Presidential Demonstration Farm.
Museveni yasuubizza bannaluwero ng’ebitundu okuli Kinoni awatali masomero ga ssekendule, bagenda kugafuna mu bwangu.
Pulezidenti Museveni yasabye abantu okwongera okuwagira NRM nga bwe babadde bakola naye n’abasaba obutaddamu kuyimirira ku nguudo kubanga kino kibateeka mu kabi k’okukwatibwa ekirwadde kya Ssennyiga Corona.
Ono yazzeemu okutegeeza nga bw’atawagirangako ky’abaana kusasula bisale mu masomero kubanga kino kiremesa abaana b’abaavu okusoma, era n’asuubiza nga bw’agenda okuggyawo ebisale mu masomero g’ebyemikono, kiyambe abayizi okugettanira.
Museveni yasuubizza okukozesa tekinologiya okumalawo obubbi bw’eddagala obuli mu malwaliro era kiyambeko ne ku kizibu eky’abasawo abeebulankanya ku mirimu mu malwaliro ga gavumenti.
Pulezidenti Museveni yasiimye bannakibiina kya NRM olwokufaayo okunoonyeza ekibiina akalulu era n’abasaba obutakung’aanya bantu naye bakanoonyeze mu maka g’abantu.
Bannaluweero Museveni baamuwadde akatebe n’effumu ng’akabonero akamwagaliza olutabaalo olulungi.