Obwakabaka bwegasse ku bannayuganda okwetaba mu kusaba okw’okwebaza Katonda n’okujjukira obulamu n’emirimu gya Ignatius Kangave Musaazi.
Mu kusaba okubadde mu lutikko ya St. Paul cathedral e Namirembe, nga kukulembeddwamu dean wa lutikko Rev. Canon Kityo Benon, ab’enju ya Musaazi banjudde enteekateeka ze bazzaako mu kujjukira omuntu waabwe.
Obwakabaka bukiikiriddwa minisita w’abavubuka, emizannyo n’okwewummuza, owek Henry Kiberu Sekabembe. Mu kwogera kwe, ategeezezza nti, bwetuba twagala eggwanga likyuuke, kisaana buli muntu akole kyonna kyakola namaanyi, obumalirivu naddala bwekiba nga kiyamba okukyuusa obulamu bwabantu abalala.
Mu ngeri yeemu, owek Sekabembe asabye ab’enju ya ignatius musaazi okufulumyayo ba musaazi abalala kubanga ensigo y’abantu abalinga musaazi mweri mu munju yabwe.
Elizabeth Musaazi, nga ye muwala w’omugenzi ignatius musaazi kangave agambye nti bali mu nteekateeka ya kuzimba ssomero mu bitundu bye nakaseke balibbule mu mugenzi iginatius musaazi lisomese abantu ba mwoyo gwa ggwanga, abaagaliza abalala okulaakulana, era abalwanirizi b’eddembe.
Okusaba kwetabiddwamu; omumyuka wa ssaabalamuzi wa uganda eyawummula, Stephen Kavuma, ab’enganda n’emikwano gy’ab’enju ya Ignatiius Kangave Musaazi.