• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Okujjukira Amatikkira ga Kabaka Mutebi II: Emikolo gya kubeera ku Watoto Church omwaka guno

Gambuuze by Gambuuze
June 12, 2026
in Amawulire
0 0
0
Okujjukira Amatikkira ga Kabaka Mutebi II: Emikolo gya kubeera ku Watoto Church omwaka guno
0
SHARES
262
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Pauline Nanyonjo

Mmengo-Kyaddondo

Katikkiro Charles Peter Mayiga ayanjudde olukiiko olugenda okukulemberamu enteekateeka z’okujaguza Amatikkira ga Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II omulundi ogwa 33.

Olukiiko lwa bantu munaana (8) lwe lwanjuddwa; Ssentebe ye Owek. Joseph Balikuddembe Kawuki, Omumyuka wa Ssentebe ye Owek. Robert Serwanga, ba mmemba abalala; Owek. Noah Kiyimba, Owek. Israel Kazibwe Kitooke, Owek. Ahmed Magandaazi Matovu, Omuk. Josephine Nantege, Omuk. David Ntege ne Capt. Christopher Lutwama. Bano Katikkiro agamba balina ebbeetu okwongera okugaziya olukiiko nga bagattako abantu abalala.

Owek. Joseph Kawuki, Ssentebe w’Olukiiko olwanjuddwa ng’awera.

Mu kwanjula olukiiko luno, Kamalabyonna wa Buganda Mayiga anyonnyodde obukulu bw’amatikkira eri Obuganda na lwaki olunaku luno lujaguzibwa buli mwaka.

“Tujjukira amatikkira olw’omulembe ogwa Kabaka oyo aba afuga Obuganda ate era ffenna nga bwe tukimanyi wano mu myaka 33 bintu bingi bye tulabye ate ebisinga ku bbyo bya buwanguzi era nze ndowooza nti olw’okuba Kabaka yatikkirwa ensonga zaffe nnyingi ezitukwatako nga abantu ba Buganda z’ongedde okutegeerekeka naye bw’oggyako ensonga ez’obuwangwa n’ennono waliwo n’ensonga nnyingi nnyo ze tulabako ennaku zino singa otunuulira emirimu egikolebwa mu Bwakabaka ku ludda olw’ebyobulamu, ebyenjigiriza, embeera z’abantu n’ebirala” Katikkiro Mayiga.

Katikkiro asinzidde wano n’ategeeza nti mu kutuukiriza akalombolombo k’okujjukira Amatikkira ga Kabaka, omwaka guno emikolo gigenda kubeera mu kkanisa ya Watoto.

“Emyaka kati nga 3-4 tubadde tujjukira Amatikkira nga tugenda mu masinzizo ag’enjawulo, mu 2024 twali mu lutikko e Namirembe, mu 2025 twali mu muzikiti e Kibuli, ate ku mulundi guno tugenda kubeera mw’emu ku kkanisa ya Watoto Church ab’olukiiko oluteesiteesi gye banakanyaako n’abakulira Watoto Church” Katikkiro Mayiga.

Wano annyonnyodde nti enkola eno yaleteebwa kubanga Kabaka wa bantu bonna, ab’enzikiriza n’eddiini ez’enjawulo era nga eno y’ensonga lwaki yasiima entambula nga bweri mu biseera bino nga emikolo gitegekebwa mu masinzizo, abantu bonna bafune omukisa okujuaguza n’okujjukira Amatikkira n’abantu ne bonna.

Owek. Mayiga ategeezezza nti omulamwa gw’okujjukira Amatikkira omwaka guno gugamba nti “Tubeere bavumu mu kukuuma Obuwangwa bwaffe”. Anyonnyodde omulamwa guno nti guggyayo bulungi olugendo lwa Kabaka Mutebi olw’obuzira kuba bwe yava mu buwaŋŋanguse n’amalirira okuzza Engoma ya Buganda, bwatyo, asabye abantu okuba abazira naddala mu mirimu gye bakola nga banywevu okusuuza bannakigwanyizi ebitali byabwe.

Ssentebe w’Olukiiko olwanjuddwa Oweek. Joseph Kawuki yeyamye ku lwa bonna nti baakukozeza obuvumu mu lutabaalo lwe boolekedde okulaba nti baggusa omulimu ogubali mu maaso, era yeyanzizza Maasomoogi olw’obuvunanyizibwa bw’abawadde.

Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yatikkirwa okutuula ku Nnamulondo ya Bajjajja be nga 31 Kasambula, 1993, era omwaka guno lwe giwera emyaka 33 bukya atikkirwa.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.