Bya Ssemakula John
Wakiso
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, akungubagidde Ssaabasumba w’essaza ekkulu ery’e Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga, eyasangiddwa ng’afiiridde mu maka ge enkya ya leero.
Owek. Mayiga asinzidde mu maka ge e Lweza ku leero Lwomukaaga n’agamba nti Ssaabasumba abadde ayagala nnyo ekika kye ne Kabaka we.
“Mbadde mpuliziganya naye ku nsonga enkulu ez’Obwakabaka bwa Buganda naye era tubadde twogerezeganya nnyo ku nsonga ezikwata ku Uganda eyaawamu. Kale kufiirwa ku nnene nnyo.” Katikkiro Mayiga bw’agambye.
Mayiga ategeezezza nti by’akoze abikoze naddala mu ssaza ekkulu ery’e Kampala naye akabonero akalabika kwe kukyusa ekifaananyi kya Namugongo n’amutuusa ku ddaala ly’ ensi yonna.
Katikkiro Mayiga ayogedde ku Ssaabasumba ng’omuntu abadde omumalirivu era ayagala ennyo Kabaka we n’ekika kye eky’emmamba.
“Nzijjukira ab’Emmamba lwe baasooka okutongoza SACCO yaabwe era Ssaabasumba yaliwo nnyo, omukolo twagukolera awo ku Pope II. Kiwa nnyo essuubi abakulembeze b’eddiini bwe balaga nti bategeera ensonga z’obuwangwa n’eddiini.” Katikkiro Mayiga bw’annyonnyodde.
Owek. Mayiga akkaatirizza nti Ssaabasumba Lwanga abadde teyeekweka ku nsonga z’Obwakabaka era ng’ajjukiza gavumenti egabane obuyinza mu nkola ya Federo kireetewo obwenkanya eri ebitundu ebyenjawulo.
“Abadde yeenyumiriza nnyo mu Ssekabaka Muteesa I, Ssekabaka Muteesa I ye yayita Abamisane, oyinza n’okugamba nti Uganda nga bw’ogiraba olwaleero etandikira ku Ssekabaka I.” Owek. Mayiga bw’annyonnyodde.
Okusinziira ku Katikkiro Mayiga, Ssaabasumba Lwanga abadde yatandika ekkadiyizo ly’Eklezia n’alibbulamu erinnya lya Ssekabaka I okulaga okusiima kwe eri Obwakabaka mu kuleeta kuno eddiini.
Owek. Mayiga agasseeko nti Ssaabasumba abadde alina enteekateeka ey’okutambula n’ebitongole bya Buganda nga BUCADEF okuyamba okukulaakulanya abantu n’okubagobako obwavu kuba abadde akubiriza abantu okwegayirira Katonda nga bwe bakola.
Katikkiro Mayiga asaasidde Obuganda, Eklezia n’abenganda, olw’okufa kwa Ssaabasumba. Asaba Omukama Katonda abagumye.