Bya Francis Ndugwa
Kampala
Kkooti enkulu mu Kampala eyongezzaayo okuwa ensala yaayo ku musango oguvunaanibwa omubaka Robert Kyagulanyi Ssentamu (Robert) ne banne okweddiza obuyinza bw’ekibiina kya National Unity Reconciliation and Development Party (NURP) nebakikyusa n’erinnya okukifuula, abamu ku bammemba kye bagamba nti kyakolebwa mu bukyamu.
Omulamuzi wa kkooti eno, Musa Ssekaana yali yateekawo olwaleero ku Lwokutaano okuweerako ensala ye naye omwogezi w’ekitongole ekiramuzi Jameson Karemani, ategeezezza nti okuwa ensala mu musango guno kwongezeddwayo okutuuka wiiki ejja.
“Mutegeezebwa nti ensala y’omusango gwa NUP tegenda kubaayo leero naye ejja kuweebwa wiiki ejja ku lunaku olunaabategeezebwa,” Karemani bw’ategeezeza mu bubaka bw’asindise ku makya ga leero.
Kinajjukirwa nti, mu mwezi gwa August abaali bannakibiina ki NURP, Basile Difas ne Hassan Twaha baatwala mu kkooti abantu 11 nga bawakanya eky’okukyuusa erinnya ly’ekibiina n’okukwasa obukulembeze bwakyo eri Bobi Wine ky’abagamba nti kyali kimenya mateeka.
Bobi Wine avunaanwa n’abalala okuli ; akakiiko k’ebyokulonda, Ssaabawolereza wa gavumenti, eyali Pulezidnti waakyo Moses Kibalama, Paul Ssimbwa Kagombe n’abakulembe ba NUP okuli; David Lewis Rubongoya, Aisha Kabanda, Joel Ssenyonyi, Flavia Kalule Nabagabe, ne Fred Nyanzi Ssentamu.
Basile ne munne, bagamba nti Ttabamiruka eyatuula mu kiseera ng’eggwanga liri ku muggalo gwa Ssennyiga Corona okuwa Kyagulanyi ekibiina yatuula mu bukyamu nga yalimu bammemba b’ekibiina 51 bokka nga abalala balekebwa ebbali.
Bano basaba kkooti erangirire nti kyali kikyamu Kibalama okukwasa obukulembeze bw’ekibiina eri Kyagulanyi, era basaba kkooti ekiyise ekiragiro ekisazaamu byonna ebyakolebwa era ekibiina kiddizibwe bannyini kyo abatuufu.
Kibalama okusooka yakuba ekirayiro nga kiraga nti buli ekyakolebwa kyali mu mateeka kyokka ate oluvannyuma nakuba ekirala nga agamba nti yawubisibwa era byonna ebyakolebwa byali bikyamu era nga yali tabisomyemu.