Obwakabaka butaddewo enkolagana n’ekitongole ekiddukanya entambula z’ennyonyi mu ggwanga ekya Civil Aviation Authority.
Enkolagana eno etuukiddwako wakati mu nsisinkano ya Ssenkulu w’ekitongole ky’eby’obulambuzi mu bwakabaka Omumbejja Carol Nnaalinya n’akulira ebyakitunzi mu Civil Aviation Authority, Tom Davis Wasswa ku Bulange e Mengo.
Mu bituukiddwako, obwakabaka buweereddwa omwagaanya okulanga ebifo byabwo eby’obulambuzi nga bakozesa flyers, banners, obutambi bwa vidiyo, n’obutabo (magazines) obwenjawulo. Enkola eno ya kuyamba abalambuzi n’abantu abayingira eggwanga okusoma n’okumanya eby’obulambuzi ebiri mu Buganda ssaako n’okubimanyisa abalala abali mu nsi ez’ebweru.
Kino kikoleddwa okwongera okutumbula eby’obulambuzi mu Buganda wamu n’okwongera ku nnyingiza y’ensimbi eziva mu by’obulambuzi.