• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Obwakabaka ne Rotary Club bongedde amaanyi mu ku saggula ensimbi z’eddwaliro ly’okumazzi.

Gambuuze by Gambuuze
August 5, 2026
in Amawulire
0 0
0
Obwakabaka ne Rotary Club bongedde amaanyi mu ku saggula ensimbi z’eddwaliro ly’okumazzi.
0
SHARES
2
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Musasi waffe

Okusonda ensimbi z’eddwaliro eritambula ku mazzi erinaakozesebwa mu bizinga by’e Ssese kwongeddwamu amaanyi era kati gavumenti ya Kabaka ne Rotary Club ya Kampala Ssese Highland bataddewo nsaleesale wa nga 30th/09/2026 okuggusa omulimo gw’okunoonya ensimbi ezisigaddeyo.

Minisita wa gavumenti ez’Ebitundu okulambula kwa Kabaka n’ensonga za Buganda ebweru, Oweek Joseph Kawuki, asinzidde mu lukiiko olw’ekikugu ne banna Rotary ku Bulange e Mmengo, n’alaga nti eddwaliro eritambulira ku mazzi lyetaagibwa nnyo olw’omuwendo gw’Abantu omunene oguli ku bizinga 83 ebikola e Ssaza Ssese wamu ne Buvuma erina ebizinga 53.

“Omuntu okutambula ku mazzi okunoonya obujjanjabi kizibu kuba entambula y’okumazzi ya buseere ddala y’ensonga lwaki Obwakabaka nga buli wamu ne Rotary bwavaayo n’enteekateeka okulaba nti tussaawo eddwaliro erinaatambula ku mazzi nga libuna ebizinga eby’enjawo okujjanjaba abantu wamu n’okukuba ensiisira z’ebyobulamu ez’enjawulo okulaba nti abantu ba Kabaka bafuna obujjanjabi” Oweek Kawuki bw’alambise.

Minisita Kawuki alaze nti sente ezibalirirwamu emitwalo gya dolla 44,600 z’ezisuubirwa okukola eddwaliro wamu n’okugula ebyuma ebikozesebwa ebitali bimu, kale n’akowoola gavumenti n’abantu ssekinnoomu okubakwasizaako ku ddimu lino lye baliko kuba liganyula bannayuganda bonna.

Minisita w’enkulaakulana y’Abantu era avunaanyizibwa ku by’obulamu mu Bwakabaka,Oweek Choltilda Nakate Kikomeko, alaze nti mu kaweefube w’Obwakabaka ow’okusitula omutindo mwe muli n’okusitula embeera z’obulamu abantu ba Buganda mwe bawangaalira.

N’olwekyo eddwaliro eriseyeeya ku mazzi lya kukwata ku mbeera y’obujjanjabi nga abantu ku bizinga bajjanjjabwa mu ngeri ey’ekikugu.Ivan Kasambeko okuva mu Rotary Club ya Kampala Ssese Highland, annyonnyodde nti eddwaliro lye bateekateeka okuzimba lyakujjanjaba abaana, abakulu n’abakadde n’akikaatiriza nti polojekiti eno ya nkyukakyuka mu ggwanga lyonna nga bataasa obulamu bw’abantu abawangaalira ku bizinga.

Akawunti okusobola okutekebwa ensimbi z’eddwaliro lino kwe kuli enkola y’omutimbagano eya Rotary Global grant namba 2462408 oba ku nkola eya Rotary Club Ssese Floating Clinic Project mu Centenary bank namba 3100119730 wamu ne Merchant code 654560.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist