Bya Ssemakula John
Kampala
Obwakabaka bwa Buganda ne bannalotale b’e Nsambya, badduukiridde amaka agalabirira abaana abataliiko mwasirizi aga Wells Spring Home for Disabled Children, agasangibwa e Kalungu mu Buddu.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/11/124680146_390967791940899_3026954709976327615_n-1024x576.png)
Bano nga bakulembeddwamu Omumyuka owookubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa n’Omukungu Micheal Kironde, Nnaava Faith Nabaggala n’abalala, baliko ebintu bye bawaddeyo eri amaka gano.
Mu bino mulimu; obugaali n’ebintu ebyeyambisibwa mu bulamu obwabulijjo. Wano Owek. Waggwa Nsibirwa w’asinzidde n’asaba abantu bulijjo okudduukirira abali mu bwetaavu.
Owek. ne Bannalotale balambudde emirimu egikolebwa mu maka gano era ne basuubizza okwongera okubakwasizaako.
“Naffe mu Bwakabaka ne mu Uganda muno, okugamba nti tulina we tutuuse, tulina kulabira ku ngeri gye tuyambamu abantu abaliko obulemu.” Owek. Waggwa bwe yagambye.
Owek. Waggwa yasabye abaami ba Ssaabasajja Kabaka mu magombolola gonna mu Buganda, okuteekawo ekifo ekiyambako abantu abaliko obulemu.
Minisita yasuubizza okukunga bannalotale b’e Lukaya, okuyambako ku maka gano era n’akakasa nti Rotary ye Nsambya n’Omuk. Kironde, bakkiriza okuwa amaka gano obugaali buli lwe ganaaba n’obwetaavu.
Waggwa yeebazizza Nakaggwa olw’okusalawo ayambeko ku baana b’eggwanga bano, kuba ekikolwa kino kya buzira.
Mu kwogera kwe, Omuk. Micheal Kironde yeeyamye okukwatiza ku maka gano abaana basobole okufuna obulamu obulungi era n’abawa akakadde kalamba okubayambako.
Amaka ga Spring Home for Disabled Children gaatandikibwa omukyala aliko obulemu, Noelina Nakaggwa e Kyanaggolo mu ggombolola y’e Bukulula mu disitulikiti y’e Kalungu mu Buddu.
Bano balabirira abaana okuli; abalema, bakigala, bamuzibe n’abalala era nga galina abaana abasoba mu bitaano.
Omukyala Nakaggwa yategeezezza nti ekirowoozo yakifuna mu 1988 oluvannyuma lw’okulaba abaana abaliko obulemu mu kitundu kino nga babonabona awatali kuyambibwako, era n’asalawo okufuuka maama waabwe kuba yali amanyi bulungi kye bayitamu.
Nakaggwa yannyonnyodde nti basanga okusoomoozebwa mu bintu by’ensimbi okwebeezaawo era n’akuutira abazadde okukomya okusosola abaana be bazaala nga baliko obulemu kubanga si kusalawo kwabwe.
Bo abaana abali mu maka gano beebazizza Beene olw’enteekateeka eno.