Bya Shafic Miiro
Kampala – Kyaddondo
Obwakabaka bwa Buganda bwanjudde enteekateeka z’omupiira gw’Ebika bya Buganda nga zino zijja kutandika nga 12 /04 nga zino zigenda kutandika n’ekyeggulo ky’okusonderako ssente nga kino kyakubeera ku Hotel Africa.
Kino kibikuddwa Minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone, Owek. Robert Sserwanga mu lukung’aana lwa bannamawulire ku Mmande e Bulange Mmengo.
Wano Owek. Serwanga ategeezezza Obuganda nti emipiira gy’Ebika egy’omulundi ogwa 50 gyakutandika okuzannyibwa nga 20/04/2024.
Minisita Sserwanga agamba nti omwaka guno okubaka kwe kujja okusooka okutuusa okuva ng’ennaku z’omwezi 20 – 27 ogw’okuna, okubaka kuliba kuggalwawo ate ng’ogwebigere gutandika.
Mu luzannya oluggulawo, emipiira gyombi mu balenzi n’abawala giggulawo ng’ Emmamba Namakaka ezannya Obutiko.
Minisita era ategeezeza nti buli aneetaba ku kyeggulo nga kino omu ajja kusasula emitwalo 30 ate amakampuni obukadde 10 olwo buli Kika kibeere n’emmeeza ya bukadde 3.
Wano Omutaka Kidimbo Dr. Grace Kizito Bakyayita waasinzidde naakoowola Abazzukulu okutandika okweteekateeka okusobola okuwagira ebika byabwe nga batandikira ddala ku kwetaba ku kyeggulo ky’okusonda ensimbi.
Ssentebe w’Olukiiko oluteekateeka Emipiira gy’Ebika, Owek. Hajj. Sulaiman Magala, annyonnyodde nti emitendera egisinga mu kuteekateeka gyatandikiddwako dda, era asabye abakulira ttiimu okweteekateeka mu budde.
Kinajjukirwa nti omwaka oguwedde ekikopo kyawangulwa Ekika ky’Engonge mu mupiira gw’abasajja ate Ekika ky’Engeye nekiwangula mu kubaka.