• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Obwakabaka bwanjudde enteekateeka y’ Abavubuka , Ebitone n’Ebyemizannyo ey’omwaka 2025

Gambuuze by Gambuuze
January 13, 2025
in Agafa e Mengo, Amawulire
0 0
0
Obwakabaka bwanjudde enteekateeka y’ Abavubuka , Ebitone n’Ebyemizannyo ey’omwaka 2025
0
SHARES
87
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

By Pauline Nanyonjo

Bulange – Mmengo

Minisitule  y’Abavubuka, Emizannyo n’ Ebitone mu Bwakabaka etongozza enteekateeka y’ Emizannyo n’Ebitone awamu n’Abavubuka mu Bwakabaka  ey’omwaka 2025 ng’eno erambika ebintu engeri gyebigenda okutambuzibwa.

Enteekateeka eno etongozeddwa atwala Minisitule eno, Owek. Robert Sserwanga ku Mmande mu Bulange e Mmengo era nategeeza nti ku mizannyo bagasseeko Enkuyo ne ‘Badminton.’

Owek. Sserwanga ategeezezza nti emu ku nsonga lwaki bafulumya enteekateeka nga zino nga obudde bukyali kiyambeko okuwa omukisa abo bonna abalina okugyetabamu okweteekateeka  obulungi.

Okusinziira ku nteekateeka eno nga bwefulumiziddwa, emipiira gya magombolola gye gigya okusooka okuzanyibwa nga zijja kutandiika mu Gatonnya  okutuusa nga ennaku z’omwezi 30 omwezi ggwa March  era nga Eggombolola eziwerera ddala 175 zezisuubirwa okwetaba mu mpaka zino.

Minisita Sserwanga alangiridde nti Emisinde gy’ Amazaalibwa ga Kabaka gigenda kubaawo nga 16 omwezi ogw’okuna ate empaka z’ebika bya Buganda zizanyibwe wakati we nnaku z’omwezi 12 omwezi ogw’okuna okutuusa nga ennaku z’omwezi 29 omwezi ogw’okutaano olwo ate empaka z’Amasaza zitandike nga 5 omwezi ogw’omusanvu olwo emizannyo emirala giddeko.

Minisita Sserwanga annyonnyodde nti mu kino bagendereddemu okuwa omukisa abo bonna abalina okwetaba mu mizannyo egitegekebwa Obwakabaka okweteekateeka obulungi.

Omukubiriza w’Olukiiko lw’ Abataka, Nnamwama Augustine Kizito Mutumba ategeezezza nga abakulu b’obusolya bakuteekateeka bulungi bazzukulu babwe okusobola okutambulira awamu enteekateeka eno nga bwetongozeddwa.

Ssentebe w’ ekibiina ki Uganda Secondary Schools Sports Association, Omw. Justus  Mugisha yeebazizza Obwakabaka olw’okutumbula ebyemizannyo era yategezeza nti beteefuteefu okukola n’Obwakabaka okuyitimusa ebyemizannyo n’okubiteeka ku ddala erigwanidde.

Akulira Uganda Bad Minton Association, Annet Nakamya ategeezezza nti basanyufu nnyo omuzannyo guno okugattibwa ku mizannyo eginazanyibwa mu Bwakabaka.

Era yeeyamye nti bakufuba okulaba nti batambuza omuzannyo guno gumanyike olwo abantu bagwetanire.

Ssentebe w’olukiiko oluddukanya empaka z’Amasaza ga Buganda, Hajji Sulaiman Ssejjengo ategeezezza nti bakufuba okulaba nga enteekateeka eno etambula nga bwe tongozeddwa

Akulira abavubuka mu Buganda, Baker Ssejjengo akunze abavubuka bonna mu Buganda okujjumbira emizannyo gyonna nga bwegirambikiddwa wamu no’bukulembeze ku mutendera gwa magombolola mu Bwakabaka.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.