By Pauline Nanyonjo
Bulange – Mmengo
Minisitule y’Abavubuka, Emizannyo n’ Ebitone mu Bwakabaka etongozza enteekateeka y’ Emizannyo n’Ebitone awamu n’Abavubuka mu Bwakabaka ey’omwaka 2025 ng’eno erambika ebintu engeri gyebigenda okutambuzibwa.
Enteekateeka eno etongozeddwa atwala Minisitule eno, Owek. Robert Sserwanga ku Mmande mu Bulange e Mmengo era nategeeza nti ku mizannyo bagasseeko Enkuyo ne ‘Badminton.’
Owek. Sserwanga ategeezezza nti emu ku nsonga lwaki bafulumya enteekateeka nga zino nga obudde bukyali kiyambeko okuwa omukisa abo bonna abalina okugyetabamu okweteekateeka obulungi.
Okusinziira ku nteekateeka eno nga bwefulumiziddwa, emipiira gya magombolola gye gigya okusooka okuzanyibwa nga zijja kutandiika mu Gatonnya okutuusa nga ennaku z’omwezi 30 omwezi ggwa March era nga Eggombolola eziwerera ddala 175 zezisuubirwa okwetaba mu mpaka zino.
Minisita Sserwanga alangiridde nti Emisinde gy’ Amazaalibwa ga Kabaka gigenda kubaawo nga 16 omwezi ogw’okuna ate empaka z’ebika bya Buganda zizanyibwe wakati we nnaku z’omwezi 12 omwezi ogw’okuna okutuusa nga ennaku z’omwezi 29 omwezi ogw’okutaano olwo ate empaka z’Amasaza zitandike nga 5 omwezi ogw’omusanvu olwo emizannyo emirala giddeko.
Minisita Sserwanga annyonnyodde nti mu kino bagendereddemu okuwa omukisa abo bonna abalina okwetaba mu mizannyo egitegekebwa Obwakabaka okweteekateeka obulungi.
Omukubiriza w’Olukiiko lw’ Abataka, Nnamwama Augustine Kizito Mutumba ategeezezza nga abakulu b’obusolya bakuteekateeka bulungi bazzukulu babwe okusobola okutambulira awamu enteekateeka eno nga bwetongozeddwa.
Ssentebe w’ ekibiina ki Uganda Secondary Schools Sports Association, Omw. Justus Mugisha yeebazizza Obwakabaka olw’okutumbula ebyemizannyo era yategezeza nti beteefuteefu okukola n’Obwakabaka okuyitimusa ebyemizannyo n’okubiteeka ku ddala erigwanidde.
Akulira Uganda Bad Minton Association, Annet Nakamya ategeezezza nti basanyufu nnyo omuzannyo guno okugattibwa ku mizannyo eginazanyibwa mu Bwakabaka.
Era yeeyamye nti bakufuba okulaba nti batambuza omuzannyo guno gumanyike olwo abantu bagwetanire.
Ssentebe w’olukiiko oluddukanya empaka z’Amasaza ga Buganda, Hajji Sulaiman Ssejjengo ategeezezza nti bakufuba okulaba nga enteekateeka eno etambula nga bwe tongozeddwa
Akulira abavubuka mu Buganda, Baker Ssejjengo akunze abavubuka bonna mu Buganda okujjumbira emizannyo gyonna nga bwegirambikiddwa wamu no’bukulembeze ku mutendera gwa magombolola mu Bwakabaka.