• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Obwakabaka bwakusomesa abantu engeri gyebasobola okukuuma obutonde bw’ensi

Gambuuze by Gambuuze
June 27, 2024
in Amawulire
0 0
0
Obwakabaka bwakusomesa abantu engeri gyebasobola okukuuma obutonde bw’ensi
0
SHARES
44
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ronald Mukasa

Bulange – Mmengo

Obwakabaka bwa Buganda bwakutandika okusomesa abantu ab’enjawulo ku ngeri gyebasobola okukuumamu Obutonde bwensi kibuwonye okutaaguza n’okusanyizibwawo abantu abatamanyi mugaso gwabwo.

Ekyama kino kibikuddwa Omumyuka Asooka owa Katikkiro Owek. Hajji Twaha Kawaase Kigongo mu bimuli bya Bulange leero ku Lwokuna bw’abadde atongoza enteekateeka etegekeddwa Abataka Abakulu ab’Obusolya.

Owek. Kaawaase annyonnyodde obukulu bw’okukuuma Obutonde bw’ensi eri Ennono n’Obuwangwa bwa Buganda kuba ebintu nga Ebika n’Emiziro awamu n’emikolo egy’enjawulo byonna bitambulira kuno.

Owek Hajji Prof. Twaha Kaawaase Kigongo ategeezezza nti eggwanga lyolekedde akaseera akazibu nga akaliiwo mu kiseera kya COVID-19 singa tewabaawo kikolebwa ku kukuuma obutonde bw’ensi.

Owek Kaawaase agamba nti mu kiseera kino omuwendo gw’abantu gweyongedde saako n’obungi bw’emmotoka ezivaamu omukka ogwobulabe n’amakoleera era awadde amagezi abatandiisi b’amakoleero okwenyigira mu kusimba ebintu gisobole okutaasaako ku mbeera eno.

Ono sabye abantu mu Bugganda okwongera amanyi mu nteekateeka ey’okukuuma obutonde bw’ensi neyebaza Abataka olw’okuvaayo ne kaweefube ono.

Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka era Omutaka w’Ekika ky’Ekkobe Nnamwama Augustine Kizito Mutumba annyonnyodde nti Ebika bya Buganda bisibuka mu butonde bwansi nga bwekityo kigwaanye okubukuuma mu mbeera yonna.

Nnamwama Mutumba agasseeko nti omosomo guno gugendereddwamu okusomesa abaana ba Buganda omugaso gw’Obutonde eri Omuganda okuva edda n’okutuuka essaawa ya leero.

Ye minisita w’ Obuwangwa, Ennono n’Ebyobulambuzi, Owek Anthony Wamala ategeezeza nti  wateekeddwa okubaawo okunnyikiza omugaso gw’okutaasa nokukuuma Obutonde bw’ensi nga buli sekinoomu asomesebwa akakwate  wakati w’Ekika kye n’Obutonde.

Owek Wamala akoowodde bazukulu ba Buganda okugwayo beetabe mu musomo gw’omwaka guno basobole okunnyonnyoka Obuwangwa, Ennono wamu n’Obutonde.

Kinajjukirwa nti omusomo ogutongozeddwa gwakubeerawo 25 omwezi ogw’e 10 mu Lubiri e Mengo.

Omukolo guno gwetabiddwako baminisita ba Kabaka  ab’enjawulo okubadde Minisita owa Gavumenti ez’ebitundu Owek Joseph Kawuki , Minisita w’Obutonde bwensi ne Bulungibwansi Owek Hajjat Mariam Mayanja  Nkalubo, Minisita w’Amawulire era Omwogezi w’Obwa Kabaka Owek Israel Kazibwe Kitooke, Minisita Cotilda Nakate Kikomeko n’abantu abalala.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.