• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Obwakabaka bwakusomesa abaami ku eddembe ly’abakyala –Owek. Nankindu

Gambuuze by Gambuuze
November 5, 2020
in Amawulire
0 0
0
Obwakabaka bwakusomesa abaami ku eddembe ly’abakyala –Owek. Nankindu
0
SHARES
17
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kibuli

Obwakabaka bwa Buganda bwakusomesa abasajja mu bitundu eby’enjawulo ku ngeri gye basobola okwewala okutyoboola eddembe ly’abakyala.

Minisita Nankindu nga ayogerako eri bannamawulire

Kino kibikkuddwa Minisita avunaanyizibwa ku kikula ky’abantu mu Gavumenti ye Beene, Oweekitibwa Prosperous Nankindu Kavuma, leero bw’asisinkanye ebibiina by’obwannakyewa ne bannabyabufuzi abalwanirira eddembe ly’abakyala ku Mestil Hotel e Nsambya mu Kampala.

“Tulina okukkiriziganya nti ekyo kimala, tukyuse endowooza zaffe, tukyuse enkola yaffe era ffe mu Bwakabaka tugenda kuddayo era tuli bamalirivu okusomesa abakulembeze, okusomesa abaami, okusomesa abakyala ate n’okusomesa abavubuka mu ngeri ey’enjawulo,” Owek. Nankindu bw’agambye.

Minisita Nankindu agambye nti bali ekkatala okulaba ng’ebikolwa by’okutulugunya abakyala n’abaana b’obuwala bikoma ku mulembe guno.

Owek. Nankindu annyonnyodde nti bagenda kuyita mu buwangwa okusobola okunyweza eddembe ly’abakyala era n’asaba abaami okumanya nti tewali kalungi kava mu kukuba bakyala.

Ebibiina bino eby’obwannakyewa bikwataganye ne bannaddiini okulaba engeri gye banaatambuzaamu enjiri y’okukuuma eddembe ly’abakyala okutuuka wansi mu bantu.

Bano bakkiriza nti kino kijja kuyamba okukomya ebikolwa okuli; okubakuba emiggo ng’ente,  okugobwa mu maka, okubasuulira abaana wamu n’ebikolwa ebirala bingi.

Ku nsonga eno, Omukungu wa Oxfam, Harriet Mbabazi ategeezezza nti ebitundu 25 ku buli 100 ebya bakyala wakati w’emyaka  15 – 45, bawangaalira mu bulamu bwakutulugunyizibwa nga walina okubaawo ekikolebwa mu bwangu.

Omubaka omukyala ow’e Kasese, Winnie Kiiza agambye nti ky’ekiseera abazadde bawe ku baana abawala ekitiibwa era baweebwe n’omukisa okubasikira singa baba bavudde mu bulamu bw’ensi.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist