Bya Gerald Mulindwa
Kampala
Obwakabaka bwa Buganda bwakukolagana ne Minisitule y’ebyempuliziganya ne tekinologiya, okutumbula obuyiiya n’enkozesa y’amagezi ga Ssaayansi ne tekinologiya mu bitundu by’Obwakabaka ebyenjawulo.
Ekyama kino kyabikkuddwa Minisita w’amawulire mu Bwakabaka Owek. Noah Kiyimba eggulo ku Lwokuna oluvannyuma lw’okusisinkana Minisita Judith Nabakooba nga yakulembeddwamu omumyuka Asooka owa Katikkiro, Owek. Twaha Kaawaase Kigongo.
Okusinziira ku Minisita Noah Kiyimba, obugenyi bwe baabaddeko bubadde bwakwongerayo ebyo ebyakkaanyizibwako Katikkiro Mayiga ne Minisita Nabakooba bwe yali akyaddeko embuga gye buvuddeko.
“Mulimu okubangawo enkolagana wakati wa Minisitule n’Obwakabaka okusobola okuganyula abantu ba Kabaka naddala mu nsonga za tekinologiya.” Owek. Kiyimba bwe yagambye.
Minisita Kiyimba yagambye nti batunuulidde okuteekawo enkolagana wakati wa ssettendekero wa Muteesa I ne Minisitule eno okusobola okutumbula amagezi ga ssaayansi ne tekinologiya.
Owek. Kiyimba yagasseeko nti Owek. Kaawaase ne Minisita Nabakooba bakkaanyizza okuteekawo olukiiko olwawamu okubangawo ebbago erigenda okulung’amya enkolagana yaabwe.
Bino we bijjidde ng’Obwakabaka bwa Buganda buli mu ntegeka z’okutumbula obukozi n’obuyiiya nga bweyambisa amagezi ga ssaayansi ne tekinologiya nga bwekirambikiddwa mu nteekateeka Nnamutayiika ey’Obwakabaka.