Musasi waffe
Obwakabaka bwa Buganda naga buyita mu Ssaabawolereza, Oweek. Christopher Bwanika buwandiikidde olupapula lw’amawulire olwa Daily Monitor nga lubusaba mu butongole okwetonda olw’okuwandiika amawulire ag’obulimba.
Mu bbaluwa eri ssenkulu wa Monitor wamu n’omukunganya walwo, Obwakabaka bwagala Monitor yeetonde ku muko ogusooka olw’okuwandiika nti Mmengo ebanjibwa doola 250,000 ekitebe ky’eggwanga ly’America mu Uganda. Okusinziira ku kiwandiiko kya Ssaabawolereza, amawulire gano agaafuluma ssabbiiti ewedde simatuufu.
Ekitebe ky’America kyawa Obwakabaka doola 5000 zokka mu 2017 okussaawo ebipande mu masiro e Kasubi.
Wabula olw’okuzimba okugenda mu maaso, kino tekyasoboka kukolebwa mu budde obulagaane.
N’olwekyo, Obwakabaka bwazzaayo essente zino era nebuweebwa alisiiti.
Kino kyakakasiddwa omwogezi w’ekitebe kino Phil Dimon.
Wabula newankubadde nga bino byagambibwa omuwandiisi wa Monitor James Kabengwa, Bwanika agambye, yagenda mu maaso n’awandiikia eggulire lino.
“Ekigendererwakye kwali kwagala kulabisa bakungu ba Kabaka ng’abayaaye era abateesigika,” Bwanika bwagambye.
Ng’ogyeko okuwandiikia okwetonda era kussibwe ku muko ogusooka owg’olupapula luno, Obwakabaka era bwagala Monitor ebuliyirire obuwumbi butaano olw’okuboonoonera erinnya.
“Singa munaaba temukoze kino, mujja kuba temutulekedde kyakukola kyonna okujjako okubakuba mu mbuga z’amateeka,” ekiwandiiko bwe kyategeezezza.
Kkopi y’ebbaluwa eno yaweereddwako Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, abamyukabe, Twaha Kigongo Kaawaase ne Robert Waggwa Nsibirwa wamu ne minisita avunanyizibwa ku by’Amawulire Noah Kiyimba.